ABAKUGU abagenda okusomesa mu misomo egitegekeddwa mu mwoleso gwa Harvest Money bakubirizza abantu bonna obutagisubwa n’okukuuma obudde kuba gwe musingi gw’okutumbula bye bakola.
Omwoleso gwa Harvest Money ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda. Gwa kubeerawo okuva nga February 27 - March 1, 2026 ku kisaawe e Kololo.
Ogw’omwaka guno guteereddwaamu ssente kkampuni ya Tunga Nutrition, Engineering Solutions (ENGSOL), Tunga Nutrition, Pearl Bank, Uganda Development Corporation ne aBi Development.
Okuyingira omwoleso guno osasula 10,000/- ate n’okwetaba mu misomo, osasula 10,000/- olunaku. Abagenda okusomesa baasisinkanye abakulira enteekateeka z’omwoleso mu Vision Group ku kitebe kyayo mu Industrial Area ku Lwokuna (eggulo), ne bategeeza nti, baamaze ddala okutegeka bye bagenda okusomesa abanajja.
Juliet Kanyesigye owa Kanyesi Dairies, omulunzi w’embuzi z’amata agenda okusomesa abaagala okuyingira bizinensi y’okulunda embuzi z’amata era ayise bonna okutandikira ku balina ebifo ebifunda okujja mu musomo gw’embuzi nga February 28, 2026. Martha Matovu, agenda kusomesa okulima omuddo gw’ensolo nga bizinensi naye akubirizza abantu bonna okweyiwa mu bungi mu mwoleso ate n’omusomo guno.
Bashir Mayiga, omukugu mu kulima obutunda agamba nti, abavubuka n’abakyala tebasaanidde kusubwa mwoleso guno. Keneddy Mwota, amyuka akulira ebivvulu mu Vision Group agamba nti, omwaka guno emisomo gigenda kuwa abalunzi n’abalimi obukugu mu nzirukanya ya bizinensi