Amawulire

Vision Group ne Budaaki batadde omukono ku ndagaano ya buwumbi ey’okusitula obulimi

KKAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde etadde omukono ku ndagaano y’enkolagana n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda okwongera okuzimba obulimi n’obulunzi okubufuula bizinensi ekola amagoba okuyita mu pulogulaamu etuumiddwa Vision Intiative for Sustainable Agriculture (VISA).

Vision Group ne Budaaki batadde omukono ku ndagaano ya buwumbi ey’okusitula obulimi
By: Herbert Musoke, Journalists @New Vision

KKAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde etadde omukono ku ndagaano y’enkolagana n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda okwongera okuzimba obulimi n’obulunzi okubufuula bizinensi ekola amagoba okuyita mu pulogulaamu etuumiddwa Vision Intiative for Sustainable Agriculture (VISA).

 

Ekitebe kya Budaaki mu Uganda kitadde obuwumbi buna n’obukadde 100 mu pulogulaamu eno ey’okumala emyaka ena ng’egenda kussibwa mu nkola kkampuni ya Vision Group okuyita mu kibiina kyayo ekya New Vision Foundation okulaba ng’obulimi n’obulunzi byongera okuvaamu ssente eziyimirizaawo abantu.

 

John Eremu, akulira New Vision Foundation agamba nti, kkampuni ya Vision Group nayo etaddemu akawumbi kamu n’obukadde 90 buli mwaka mu pulogulaamu eno ng’eruubirirwamu okulaba nga Bannayuganda bongera okufuna mu bulimi n’obulunzi ng’omulimu gwe basinga okukola.

 

“Tuli basanyufu nti, pulogulaamu eno etusanze twatandika dda enteekateeka eziruubirira okuyamba okusitula obulimi n’obulunzi mu Uganda nga kino kigenda kutwanguyiza okussisa mu nkola n’okutuukiriza ebiruubirirwa bya pulogulaamu eno nga tuzimbira ku musingi gw’empaka z’Omulimi Asinga n’omwoleso gwa Harvest Money Expo,” Eremu bw’agamba.

 

Don Wanyama, akulira Vision Group yeebazizza ekitebe kya Budaaki olw’enkolagana eno ate n’okwongera okussa ssente mu nteekateeka z’okutumbula obulimi n’obulunzi mu ggwanga kuba gwe mulimu ogusinga okukolebwa mu ggwanga.

 

“Nneebaza nnyo ekitebe kya Budaaki ate n’Abadaaki bennyini olwa ssente ezissibwa mu nteekateeka ez’enjawulo eziruubirira okusitula obulimi n’obulunzi mu Uganda kuba gwe mulimu oguyimirizaawo Bannayuganda abasoba mu 60 ku 100 era okuwa eggwanga ennyingi. Kino kitegeeza kusitula n’embeera z’abantu ate n’okussa ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga,” Wanyama bw’agamba.

 

Agamba nti, pulogulaamu bagenda kussisa mu nkola nga bali wamu n’ebitongole ebirala okuli ekya Asigma Uganda ne The Strategic Advisory Reaserach Consulting Group era ng’agamba nti, ttiimu eteereddwaawo egenda kukakasa nti, ebiruubirirwa bya pulogulaamu bissibwa mu nkola.

 

Omubaka wa Budaaki mu Uganda Frederieke Quispel, alaze essanyu olw’enkolagana eno ng’agamba nti, mumativu nti, Vision Group yaakussa bulungi mu nkola pulogulaamu eno okusinziira ku ngeri gy’ekuttemu empaka z’Omulimi Asinga n’omwoleso gwa Harvest Money.

 

“Tubadde tukolagana ne Vision Group kati okusoba mu myaka 10 mu nteekateeka z’empaka z’Omulimi Asinga omwaba omwoleso gwa Harvest Money Expo leero ogusinga obunene n’okusikiriza abalimi, abalunzi na buli aliko bizinensi gy’akola mu bulimi n’obulinzi,” Quispel bw’agamba.

 

Agamba nti, enkolagana eno eyongedde okuzimba enkolagana mu byenfuna wakati wa Uganda ne Budaaki nga kkampuni za Budaaki zisiga kuno ensimbi nga kkampuni ya De Heus eyazimba ekkolero ly’emmere y’ebyennyanja e Njeru mu Buikwe lya bukadde bwa Euro 25 ate ng’erina enteekateeka y’okuzimba endala erikubisaamu emirundi esatu ekyongera okuzimba ebyenfuna bya Uganda.

 

Okusinziira ku Quispel, pulogulaamu empya yaakuleeta wamu abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga ate n‘okwongera okuwagira n’okusitula omwoleso gwa Harvest Money Expo.

 

“Okuyita mu pulogulaamu ya VISA, Vision Group yaakutuuka ku balimi n’abalunzi abasoba mu 20,000 ng’ebawa amagezi g’ekikugu mu kukuza bizinensi zaabwe, okufuna obutale, okufuna ssente z’okwongera okukuza bizinensi zaabwe,” Quispel bw’agamba.

 

Mu ngeri y’emu pulogulaamu ya kuyunga abalimi n’abalunzi ku batuusa ebikozesebwa eby’omutindo, abakugu kw’ossa okubabangula mu ngeri y’okutuukiriza ebyetaago by’okutuuka mu butale bw’ebweru nga Budaaki.

 

Tags:
Budaaki
Buwumbi
Kusitula
Ndagaano