Amawulire

Abazigu basse ow'emyaka 12 omulambo ne bagusuula mu lutobazzi!!

Ettemu, libadde Bulopa mu disitulikiti y'e Kamuli, bwe basse Fred Bwooye 12  . Abadde mutuuze w'e Butansi mu disitulikiti y'e Buyende.

Abazigu basse ow'emyaka 12 omulambo ne bagusuula mu lutobazzi!!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omwana ow'emyaka 12 , bamufumise ebiso, omulambo gwe ne bagusuula mu lutobazzi poliisi gy'egusanze.

Ettemu, libadde Bulopa mu disitulikiti y'e Kamuli, bwe basse Fred Bwooye 12  . Abadde mutuuze w'e Butansi mu disitulikiti y'e Buyende.

Kigambibwa nti ono, yasembye okulabibwako ku pikipiki nga bali ne David ow'emyaka 25 nga mutuuze w'e Mukoka mu muluka gw'e Mpakitoni mu ggombolola y'e Bulopa.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti omulambo bagusanzeeko ebiwundu ebiwerako eby’ebiso era nga baguggyeeyo ne bagutwala mu ddwaaliro kya Kamuli General Hospital okugwekebejja nga bwe bayigga omutemu.

Tags:
Mulambo
Abazigu
Lutobazzi
Kitalo!