Amawulire

Abasomesa ba ssaayansi basabye Gavt.

OKUNOONYEREZA okukoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza by'abaana abawala n'abakyala kulaze nti omuwendo gw'abaana abawala abakola amasomo ga ssaayansi gukyali wansi nnyo.

Suzan Opok Tumusiime
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OKUNOONYEREZA okukoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza by'abaana abawala n'abakyala kulaze nti omuwendo gw'abaana abawala abakola amasomo ga ssaayansi gukyali wansi nnyo.
Akulira ekitongole kino ekya FAWE, Susan Opok Tumusiime yagambye nti, abaana abawala mu siniya ebitundu 28 ku 100 bokka be bakola amasomo ga ssaayansi ng’ate ekiruubirirwa kya Pulezidenti kya kulaba nga bannassaayansi beeyongerako, obuyiiya busobole okweyongera mu ggwanga.
Basazeewo okuttukiza kkampeyini etuumiddwa ‘20k for Transformation Initiative,’ egendereddwaamu okusonda ssente waakiri emitwalo 2 okuva mu Bannayuganda abalina obusobozi ziyambeko ku fiizi w'abaana abawala abakola amasomo ga ssaayansi naye nga fiizi abatawaanaya.
Opok yagambye nti, ssinga abazirakisa badduukirira kkampeyini eno nga buli mwezi waakiri bawaayo emitwalo 2, mu myaka 7 bajja kuba basonze ssente eziwerako olwo bayambe abaana nga 10,000 abali mu siniya.
Mu ngeri y’emu, n'abasomesa ba Gavumenti ab'amasomo ga ssayaansi baasisinkanye mu lukung’aana olwa SACCO yaabwe olw'okuggalawo n'okuggulawo omwaka omupya (AGM) nga lwabadde Makerere - Kikoni mu Kampala.
Wadde ng’abasomesa bano basiimu olwa Gavumenti okubongeza omusaala, bagamba wakyaliwo okusoomoozebwa kw'omujjuzo gw'abayizi mu bibiina bw’ogeraageranya n'omuwendo gw'abasomesa. Ne bagamba nti, kino kitaataaganya okuyita kw'abayizi abamu mu masomo gano.
Akulira SACCO yaabwe, Robert Kwizera yayanjulidde bammemba engeri gy’ekozeemu omwaka oguwedde n’ategeeza nti, baakoze amagoba mangi ddala. N’agamba nti, ssente eziri mu SACCO eno zikuze okuva ku buwumbi 6 obwabaweebwa Pulezidenti Museveni emyaka etaano emabega, okutuuka ku buwumbi 7.
Mu SACCO eno, bammemba bawolebwa ku magoba amatono nga ge gayambye ssente zino okweyongera. Abasomesa baasiimye SACCO eno ne bagamba nti, ebayambye okukyusa obulamu bwabwe