Amawulire

Kazimba alabudde ku ttemu

SSAABALABIRIZI w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye Bannayuganda okukozesa amaka gaabwe ng’eggunjuliro ly’abaana, basobole okweyisa obulungi n’okukola eby’Obwakatonda.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu (owokubiri ku kkono) ng’ali ne Bakagodo oluvannyuma lw’okutukuza obufumbo bwabwe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSAABALABIRIZI w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye Bannayuganda okukozesa amaka gaabwe ng’eggunjuliro ly’abaana, basobole okweyisa obulungi n’okukola eby’Obwakatonda.
Yasinzidde ku Lutikko e Mukono ku Ssande bwe yabadde akulembeddemu okusaba ku mukolo Omulabirizi w’e Mukono, Rt. Rev. Enos Kitto Kagodo ne maama Catherine Kagodo bwe baabadde bajaguza emyaka 30 mu bufumbo obutukuvu n’emyaka 3 ng’aweereza ng’Omulabirizi w’e Mukono.
Kazimba yawadde ekyokulabirako eky’ettemu ery’omuddiring’anwa omuli n’eryakoleddwa ku mukozi wa UCU, Pamela Tumwebaze n’ategeeza nti, bino biva ku bbula ly’embala y’Obwakatonda mu mitima gy’abantu. Yasabye abazadde okuba ekyokulabirako eri abaana era babakubirize okwewala ebikolwa ebiyinza okubatwala mu muliro.
Omukolo gwetabiddwaako omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Robert Wagggwa Nsibirwa eyakakasizza ng’Obwakabaka bwe bwenyumiririza mu bukulembeze bw’omulabirizi Kagodo kuba ayambye okugatta Abakristaayo n’Obwakabaka.
Omulabirizi Kagodo ne maama Catherine Kagodo beebazizza Katonda olw’emyaka 30 gye bakuumaganye n’ekisa kye yabassaako okukulembera Obulabirizi buno.
Abakristaayo baasonze ssente ezaasobye mu bukadde 50 ez’okuzimba Lutikko empya.