Amawulire

Omwogezi w’abayeekera ba M23 e Congo attiddwa

OMWOGEZI w’abayeekera ba M23 mu DR Congo, attiddwa ennyonyi za drone ezeevuga zokka banne ne bannyogoga.

Gen. Ngoma
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMWOGEZI w’abayeekera ba M23 mu DR Congo, attiddwa ennyonyi za drone ezeevuga zokka banne ne bannyogoga.
Gen. Willy Ngoma abadde ayogerera abayeekera abo abawagirwa Rwanda, yattiddwa okusinziira ku ggye ly’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikuuma emirembe mu DR Congo.
Amawulire ga AP gaategeezezza nti, abayeekera bano baabadde bawummuddemu ekiro ku ssaawa mwenda mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki eno, drone ne zikuba enkambi mwe baabadde mu kabuga Rubaya mu ssaza lya North Kivu.
Abayeekera ba M23 bakyali mu nteeseganya ezikomya olutalo olwo ne Gavumenti ya DR Congo ekulemberwa Felix Tshisekedi, kyokka omwaka oguwedde baawambye ebibuga ebinene mu buvanjuba bw’eggwanga eryo okuli Goma, Bukavu ne Uvira.
Okulwana okw’amaanyi ng’amagye ga DR Congo gafunye ennyonyi ezo ze yaguze e China, kwabayambye okweddiza Uvira ne gaddamu n’okuggulawo ensalo y’eggwanga eryo ne Burundi ekibuga ekyo we kisangibwa