Abantu ab’enjawulo, bakyagenda mu maaso n'okweyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso gwa Haverst money Expo ogw’omulundi ogw’ekkumi.

Ono yazze kwolesa ebibala omuli emicungwa emizungi ne dragon fruit eziziyiza kkansa ne ssukaali
Okutendekebwa nakwo kwatandise dda mu bintu eby'enjawulo omuli okulunda embizzi, okulima emmwaanyi, okulima obutunda, okulunda enkoko, obumyu n'ebirala.

Amapeera ag'omulembe nago gasange mu mwoleso
Abamu ku bazze okwolesa, bagambye nti entandikwa y'omwoleso guno ogw’ennaku essatu ebadde nnungi era ne bakoowoola abantu okujja mu bungi okugwetabamu n'okubagulako.

Enteekateeka nga bwe zaabadde eggulo nga bategeka ekisaawe
Okuyingira mu mwoleso guno, osasula shs. 10,000/ n'okutendekebwa nakwo osasula 10,000/ ate abayizi bo basasula 7,000/=