Abalunzi b'obumyu baweereddwa amagezi okusooka okunoonya akatale nga tebannaba kussa ssente mu ffaamu.
Muhawiya Mukasa owa Kalf farm e Kapeeka bw'abadde asomesa okulunda obumyu nga bizinensi agamba nti okufuna mu bulimi n'obulunzi oteekeddwa okugoberera amateeka ga bizinensi.

Mukasa ng'asomesa abantu ku nnunda y'obumyu ey'omulembe
Obulimi n'obulunzi bizinensi nga endala zonna, noolwekyo buli ky’oteekeddwa okukola mu bizinensi endala naawe agenda okulima n'okulunda nga bizinensi oteekeddwa okukola,” Mukasa bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti amagoba gayinza obutabeeramu mu ntandikwa naye obwagazi bugenda kukuyamba okugumiikiriza.
Amagezi; wano tutunuulira okumanya obutale, enkola oba entambuza y’abaffaamu, okusoomoozebwa n'ebirala.

Obumu ku bumyu bwe balunda
Okussa mu nkola: Tolinda kusooka kumanya buli kimu. Tandika ne ky’olina ogende ng'ogaziwa.
Okukula efuuke bizinensi: Tandika mpola wabula ng'olina ekirowoozo ekinene. Amagoba mu bulimi n'obulunzi tegajja lumu wabula mpola mpola okumala ekiseera.
Endiisa; Liisa okusinziira ku mutendera gw’oliko. Emmere etabuddwa obulungi gamba ey'obuweke yeetaaga mulunzi atuuse ku mutendera gwa bizinensi ennene.