ABATUUZE ku kyalo Gombe mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana baguddemu ekyekango bwe bagudde ku mulambo gw’omuntu ataategeerekese mannya ku kyalo kino nga gusuuliddwa ku kkubo wakati mu kire ky’enkuba.
Omugenzi mu kitundu tewali amumanyi wabula ng’endabika gy’abadde alabikamu eraga nti aleeteddwa buleesi ne bamusuula mu kasaka ku kkubo eridda ku kitebe kya ggombolola y’e Gombe.
Alaboddwa abatuuze ababadde batambula nga bagenda okukola. Bano be batemezza ku poliisi okuva e Matugga ne bajja era nga bazze n’omusawo waayo ayitibwa Soco eyeekebejjeza omulambo era ne guteekebwa ku kabangali ya poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.
Abatuuze nga bakulembeddwa Steven Ssebambuulidde bagambye nti omugenzi ono mu kitundu kino tebamumanyi ate nga n’ekifo we bamutadde tewabaddeewo nsiitaano yonna ekibalaze nti kyandiba nga baamuleese buleesi.
Bano basabye poliisi okunoonyerezza ku baani abayinza okuba nga bakoze ettemu lino kuba omuntu ono engoye z’abaddemu kiraga nti abadde muntu waabuvunaanyizibwa nga kati batunuulidde poliisi okulaba ng’ekwata abayinza okuba nga be baakoze ekikolwa kino.
Abatuuze era balaajanidde Gavumenti n’amakubo agayingira munda nga gava ku kolaasi nago bagateekeko kkamera kuba kati abazigu beeyambisa ebifo ebitaalimu kkamera ne bakola obumenyi bw’amateeka.
DPC w’e Matugga Yudaaya Mugoya agambye nti poliisi etandise okunoonyerezza abayinza okuba nga be baakoze ettemu lino era ng’omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago abasawo bagende mu maaso n’okugwekebejja.