Amawulire

Kabaka alambudde omulimu ogukoleddwa ku Masiro e Kasubi

Kabaka alambudde Amasiro e Kasubi n’asiima omulimu amakula ogwakoleddwa mu kugamaliriza ne gadda ku mutindo gwe gaaliko nga tegannakwata muliro mu 2010.

Kabaka alambudde omulimu ogukoleddwa ku Masiro e Kasubi
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Kabaka alambudde Amasiro e Kasubi n’asiima omulimu amakula ogwakoleddwa mu kugamaliriza ne gadda ku mutindo gwe gaaliko nga tegannakwata muliro mu 2010.

 

Ssaabasajja yalambudde Amasiro ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Yayaniriziddwa Katikkiro w’Amasiro gano, Ssentebe w’Olukiiko olukoze omulimu gw’okuzzaawo Amasiro gano Al-Hajj Kaddu Kiberu, Omulangira Mulondo n’abasiige abalala abasangibwa mu kifo kino.

 

Yagenze munda mu nju Muzibwazaalampanga ng’empisa bw’eri, n’alaba okuwunda nga bwe kwakolebwa.

 

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yalangirira nga December 12, 2025 ng’omulimu gw'okuzzaawo Amasiro agaakwata omuliro nga March 16, 2010 nga bwe gumaliriziddwa.

 

Okulambula kwa Kabaka kwawadde abantu ba Buganda essanyu n’essuubi nti essaawa yonna agenda kuggulawo Amasiro gano mu butongole nga bwe kirindiriddwa omwaka guno.

 

 Kasubi yafuuka Amasiro mu 1884 oluvannyuma lwa Ssekabaka Muteesa I okukisa omukono era mu kiseera kino gaterekeddwaamu Bassekabaka abalala okuli; Mwanga II, Daudi Chwa II ne Muteesa II.

 

Amasiro gano gaateekebwa ku lukalala lw’ekitongole kya UNESCO olw’ebifo eby’enkizo mu nsi yonna mu 2001 kyokka mu 2010 gaggyibwako oluvannyuma lw'okukwata omuliro wabula mu 2023, gazzibwa ku lukalala luno oluvannyuma lw’ekitongole ky’ensi yonna kino, okumatira nti gaakuddawo nga bwe gaali.

Tags:
Kabaka
Masiro
Mengo