POLIISI ye Wakiso ekutte dayirekita w’essomero ne metulooni ku by’omuyizi eyafiiridde mu kisulo.
Bano okukwattibwa kidiridde omuyizi wa P.5, John Terry Kisekka 14, abadde asomera ku ssomero lya Kololo Junior School, Kayunga Cell Gombe Ward mu disitulikiti eye Wakiso okusangibwa ng’afiiridde mu kisulo mungeri etategerekeka.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala yategeezezza nti okunoonyereza kwe bakoze kulaga nti abayizi abaabadde bava okusoma pulepu be bazudde omulambo gwa Kisekka bwebabadde bagenda okwebaka ku ssaawa 4:00 ez’ekiro kyo Lwokusatu.
Kigambibwa nti bano batemezza ku metulooni waabwe eyakubidde dayirekita w’essomero eyatemeza ku poliisi eze neyekebjja omulambo nga tenagutwala mu gwanika e Mulago.
Wabula oluvannyuma poliisi yavuddewo n’ababiri bano bagiyambeko mukunoonyereza.
Kawala yakubirizza abazadde n’abamasomero bulijjo okutegeza poliisi nga balina embeera ey’okwenyamira gye balabye mu baana oba okwogerezeganya nabo okumanya ebibanyiga ssaako okuteekawo abakugu mu by’okubudda budda abantu ku massomero