ABADDUKKANYA ppaaka ya ttakisi e Bwaise beekokkodde KCCA olw’okulemererwa okugoba ttakisi ezitikka n’okutikkulira ku luguudo.

Ssentebe Muzamiru
Ssentebe wa Bwaise Terminal Taxi Park, Muzamiru Ndibo yagambye nti, ppaaka eno egaanye okukula olwa ttakisi ezitikkira ku luguudo mu Bwaise. Agamba nti, KCCA yateekawo ekifo kya yiika munaana n’ekitundu ekisobola okusimbamu ttakisi 10,000.
Yategeezezza nti, ttakisi ezisimba ku mabbali g’oluguudo naddala ezigenda e Kasubi – Nansana – Namungona zibabobbya emitwe kuba bano bassaawo ppaaka ey’ekimpatiira. N’agamba nti, kyali kirambikiddwa nti abasaabaze abavudde e Bweyogere – Kaleerwe, balina kuyingizibwa mu ppaaka eno, abamu baveemu olwo abalala beeyongereyo e Namungoona – Nansana – Busega.

Ppaaka Y'e Bwaise Bw'efaanana
Yeemulugunyizza ne ku bodaboda ezisimba abattakisi we baagobwa. Ndibo yagambye nti, abattakisi we baabagoba, ababodaboda baawambawo nga we basimba ne bawamba abasaabaze!
Ate Hannington Kiwanuka ow’ekibiina ekigatta aba bbaasi ekya Freedom of the Uganda Bus drivers Advocacy nga y’avunaanyizibwa ku bbaasi ezigenda mu mambuka yagambye nti, KCCA nepoliisi be balina okukaka bbaasi ne ttakisi okuyingira mu ppaaka. N’agamba nti, era kibakakatako n’okugoba bodaboda ezisimba abattakisi we baagobwa.

Kiwanuka
Kiwanuka yagambye nti, aba ttulafiki basaana okussaawo engassi ku bbaasi ne ttakisi ezitikkira ku nguudo, kitiise abakikola basobole okwesogga ppaaka.
Yatangaazizza nti, mu ppaaka eno mulimu ekifo bbaasi we zirina okutikkulira abasaabaze n’ekirala we zirina okutikkira abasaabaze abakwata ku nguudo ez’enjawulo kyokka tewali bbaasi yali erinnyeeyo!
KCCA ETANGAAZIZZA
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabine yategeezezza nti, bagenda kulondoola ensonga eno. Yagambye nti, tewali nsonga lwaki bbaasi yandibadde eyingira ekibuga okwongerayo omugotteko nga waliwo ppaaka e Bwaise.
“Tugenda kukwatagana ne Town Clerk mu Kawempe n’abakozi abalala tulondoole ensonga eno era tugitereeze,” Nuwabine bwe yategeezezza.