BANNANSI ba Buyindi ababeera mu Uganda bakubiriziddwa okwagalana n’okubeera obumu.
Byabaddewo nga bajaguza olunaku lwabwe olw’okulaga obumu, okwagalana n’obwasseruganda ogubeeramu okwesiiga langi nga gwabadde ku Millenium Park e Lugogo.

Bannansi Ba Buyindi E Lugogo
Omukolo gwategekeddwa ekibiina kya Rajasthani Association, ekitebe kya Buyindi mu Uganda n’ekibina ekigatta Abayindi nga bali wamu ne kkampuni ya Kansai Plascon.
Gwetabiddwaako n’abayimbi okuva e Buyindi okwabadde Pallavi Dabholkar okuva e Mumbai ne Parleen Singh Gill abaayimbye ng’eno abantu bwe beemetta langi eyaleeteddwa aba Plascon. Baalidde n’okunywa nga bwe babinuka amasejjere.
Ennyonyi ya poliisi yacamudde omukolo bwe yayise kumpi ku mitwe gy’abantu nga bw’esuula obumuli ate nga ne langi bw’efuumuuka mu bantu abaabadde mu ssanyu eritagambika.
Gwabaddeko n’okuwangula ebirabo era waliwo abaawangudde tiketi z’ennyonyi okugenda e Buyindi, ttivvi n’ebirala nga byabakwasiddwa akulira kkampuni ya Plascon, Santosh Gumte.
Gumte yagambye nti, omukolo guno ogumanyiddwa nga Holi mu buwangwa bw’Abayindi, guyamba okugatta abantu, okuleeta obumu n’okulaga okwagalana n’akubiriza abaagwetabyeko okusigala nga baagalana.
“Ndi musanyufu okuba nga twetabye mu bikujjuko ebigatta abantu n’okuleeta essanyu. Tweyama okwongera okukwataga na n’abantu okutumbula obuwangwa,” Gumte