Amawulire

Kampala bw’alabika mu nnaku 14 bukya KCCA egoba abakolera ku nguudo

ENNAKU 14 KCCA nga egobye abasuubuzi ababadde bayiwa ebyamaguzi mu nguudo za Kampala, ebintu 20 ebikyukiddewo, dayirekita Sharifah Buzeki n’alangirira nti pulaani gy’alina okulongoosa ekibuga mpanvu.

Kampala bw’alabika mu nnaku 14 bukya KCCA egoba abakolera ku nguudo
By: Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

ENNAKU 14 KCCA nga egobye abasuubuzi ababadde bayiwa ebyamaguzi mu nguudo za Kampala, ebintu 20 ebikyukiddewo, dayirekita Sharifah Buzeki n’alangirira nti pulaani gy’alina okulongoosa ekibuga mpanvu.

 

Ebikyukiddewo mulimu omugotteko ogubaddewo ku nguudo nga Luwum, Namirembe n’endala okubadde kutundirwa ebyamaguzi gwaweddewo.

 

Poliisi eraze nti obubbi naddala okunyakula n’okusala ensawo kwakendedde nnyo.

 

Obucaafu obubadde bukwatiridde ku nguudo naddala ku Ben Kiwanuka, Luwum, Namirembe ne mu Kikuubo bwagobeddwa kuba kasasiro ayoolebwa mu budde.

 

Bodaboda ezibadde zikwatirira ku Mini Price ne mu bifo eby’enjawulo mu luguudo lwa Non Motorized Transport Corridor (NMTC) zaagobeddwa kati ekifo kyetadde.

 

Takisi ezibadde zisimba n’ezitikkira ku Burton, Ben Kiwanuka, Kampala Road ne Namirembe Road zaagobeddwa.

 

Omuddo abasuubuzi mwe babadde batambulira n’okutuula nga batunda ebintu, KCCA eguzizzaawo n’emiti gyonna yatandise dda okugitereeza.

 

Ebifo omubadde obutale obw’ekimpatiira bisigadde bikalu. Emyaala egibadde gyawambibwa ng’abasuubuzi bagikolerako waggulu KCCA egigogodde.

 

Ebizimbe by’abagagga ebibadde bitasiigibwa ng’abasubuzi babitimbako engoye kati byonna byetadde era mu Kikuubo ebizimbe 15 by’ewadde wiiki bbiri nga bitereezeddwa.

 

Ebidongo ebibadde biwoggana mu kibuga nabyo byagobeddwa. Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti buli kimu baakitandikidde mu kibuga wakati oluvannyuma kigenda kusaasaanira ekibuga kyonna era okutundira ku nguudo mu Kampala wonna kwawerebwa.

 

Yagambye nti mu pulaani ya KCCA engazi, tebaagala kulaba bazimba mu nguudo ne bazifunza n’abakola nga tebalina ppulaani.

 

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi atwala Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigire yagambye nti mu nnaku 14 zokka, Kampala kati wa njawulo kuba obumenyi bw’amateeka bukendedde nnyo. 

 

Yagambye nti KCCA okutereeza ekibuga kyegattirwako ebikwekweto bya poliisi ebyayoola abamenyi b’amateeka.

 

Ssentebe wa bodaboda atwala Kampala Central, Kanyike Kiviiri yagambye nti KCCA by’ekola bikyusizza ekibuga n’agattako nti, ku Mini Price tewali siteegi n’oluguudo lwonna olwa NMTC era enjawulo nnene. 

 

Abattakisi abakolera mu paaka Enkadde basanyufu bya nsusso nti KCCA ekoze kinene okuyambako okubatereereza kyokka waliwo bannaabwe abakyagaanyi okuyingira paaka.

Tags:
Amawulire
KCCA
Nguudo
Kulabika
Kampala
Nnaku