OMUZZUKULU amenye wooteeri y’omugenzi Nnaalongo Kezia Bukirwa e Katwe, banne ne batabuka nga balumiriza nti, wandibaawo omugagga amuli emabega okusaanyaawo emmaaali y’omugenzi.
Omugenzi Bukirwa yayatiikirira nnyo mu kufumba emmere ennansi e Katwe okuva mu myaka gya 50 okutuusa mu 2021 bwe yafa.

Omugenzi Kezia
Bazzukulu ba Bukirwa bagamba nti, munnaabwe Herbert Mutyaba abadde addukanya wooteeri eno, yandiba nga yafunye omugagga ayagala ekifo kino. Eggulo ku Lwokubiri, kigambibwa nti, Mutyaba yaleese bakanyama ne bamenya wooteeri n’ekigendererwa ky’okutundawo.
Omu ku bazzukulu, Isaac Kato agamba nti, enkaayana zaatandika mu 2023 nga Mutyaba atandiikiriza okutunda ebintu by’omugenzi, ne baagala balonde ababiddukanya (administrators) ne basaba n’abalina ebiraamo by’omugenzi okubireeta bibalambike.
Mu kwabya olumbe nga August 28, 2025, ekiraamo kyaleetebwa ng’omugenzi yalambika engabanya y’ebintu bye mu bazzukulu be bonna naye nga wooteeri ayagala esigale bagiganyulwemu bonna. Tekyasanyusa Mutyaba eyali ayagala okutwala obuyinza obusinga n’awakanya ekiraamo.

Mutyaba
Ensonga baazituusa ewa RDC w’e Makindye, Mac Baingana, eyabagamba bakkiriziganye ne Mutyaba, bwe baagaana, ekyaddiridde kwabadde kumenya wooteeri. Ensonga zaatuuka ne mu Kkooti Enkulu era okusala omusango kwakubaawo nga March 20, 2026, kyokka Mutyaba talinze nsala ate n’amenya.
Bukirwa yaleka ebyobugagga ebiwerako omuli amayumba agapangisibwa e Makindye, ku luguudo lw’e Busaabala ne ku lw’e Salaama, ekitundu kya yiika e Katwe awali wooteeri n’amaduuka, essomero lya Elinah Memorial SS e Kabeere Ssemuto n’ettaka mu bitundu eby’enjawulo.

Abazzukulu Ku Wooteeri Ya Jjajjaabwe Eyamenyeddwa
Ssentebe wa Zooni ya Buliggwanga e Katwe awasangibwa wooteeri eno, Simon Batuusa agambye nti, ensonga ziri mu kkooti naye okuva jjajjaabwe lwe yafa, bazze basika omuguwa.
Mutyaba agambibwa okumenya wooteeri yategeezezza nti, jjajjaawe yagimuwa mu bulamu era ne bakasitoma be yaliisanga emmere yabategeezanga era nti, yakissa ne mu biwandiiko.