Amawulire

Agambibwa okunyaga omukyala abadde ava mu Bank Poliisi emukutte

Poliisi mu Kampala n'emiriraano bakutte omusajja  ateberezebwa okunyagulula abantu abava mu banka. Omukwate ye Wagaba Hussen ow'emyaka 27 nga mutuuze we Kayunga mu district ye wakiso nga bamukutte agezaako okunyagulula mu bitundu bye Najeera .

Eyakwatiddwa ng'ali ku Poliisi
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

Poliisi mu Kampala n'emiriraano bakutte omusajja  ateeberezebwa okunyagulula abantu abava mu banka. Omukwate ye Wagaba Hussen ow'emyaka 27 nga mutuuze we Kayunga mu district ye wakiso nga bamukutte agezaako okunyagulula mu bitundu bye Najeera .

Kigambibwa nti Nakawome Deborah yagye obukadde 21 mu Banka e Ntinda n'afuna boda boda emutwala ewaka wabula yabadde yakayita ku Poliisi ye Najeera boda boda endala n'ejja emisinde ne munyaulako ensawo. Nakawomne yakubye enduulu eyaleetedde abasirikale ba Poliisi n'abantu babulijjo okumuyamba.

Eyabadde avuga piki-piki yasobodde okudduka naye Wagaba eyabadde ne nsawo. Omukwate akumirwa ku Poliisi ye Najeera ng'omuyigo gwagweyabade naye bwegugenda mu maaso