Amawulire

Bbanka ya Standard Chartered ekulisizza aba Vision Group okutuuka ku myaka 40

 Bbanka ya Standard Chartered yeegasse ku bitongole ebirala okuyozaayoza kkampuni ya Vision Group ng'ejaguza okuweza emyaka 40.

Bbanka ya Standard Chartered ekulisizza aba Vision Group okutuuka ku myaka 40
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

 Bbanka ya Standard Chartered yeegasse ku bitongole ebirala okuyozaayoza kkampuni ya Vision Group ng'ejaguza okuweza emyaka 40.

Bano nga bakulembeddwa agikulira Sanjay Ruggani baakyaddeko ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area mu Kampala ne basabala naye kkeeki ng'akabonero akwokujjaguza obuwanguzi obutuukiddwako.

Sanjay atenderezza Vision Group olw'etoffaali lyetadde kunkulakulaan ye ggwanga ne bannayuganda bonna okutwalizawamu.

Wanyama ategeezazza nti Vision Group eze ekulu buli mwaka okutuusa ssaako okwongera ebirungo mu bikolebwa okusobola okutambula n'omulembe ne trkinologiya omumpya.

Wanyama yegattiddwako omumyuka we Gervase Ndyanabo  n'abalala mungeri y'emu ne Sanjay yaweerekeddwako bakoa nabo.

Leero giweze emyaka 40,bukya kkampuni ya New Vision eggulwawo ng'ebikujjuko ebikulu biri Kololo mu kivvulu kya ba Makoma.

Tags:
Kujaguza
Vision Group
Myaka