Amawulire

Loodi Meeya asiibuludde Abasiraamu ku City Hall

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka, Polof. Twaha Kigongo Kawaase eyakiikiridde Katikkiro, Charles Peter Mayiga, yategeezezza nti yeetegerezza pulaani ya KCCA namutayiika Lukwago gy’alese akoledde ekibuga nga nnungi era abasigaddewo basaana bagiteeke mu nkola.

Loodi Meeya asiibuludde Abasiraamu ku City Hall
By: Hannington Mutabazi, Journalists @New Vision

LOODI mmeeya wa Kampala Erias Lukwago asiibuludde Abasiraamu ne bamusiima okulwanirira abantu ba bulijjo. 

 

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda asooka, Polof. Twaha Kigongo Kawaase eyakiikiridde Katikkiro, Charles Peter Mayiga, yategeezezza nti yeetegerezza pulaani ya KCCA namutayiika Lukwago gy’alese akoledde ekibuga nga nnungi era abasigaddewo basaana bagiteeke mu nkola.

 

Yagambye nti Lukwago abadde akolagana bulungi ne Mmengo, abadde muwulize ate nga buli kiseera abeebuuzaako n’agamba nti alese omukululo ogw’amaanyi mu kibuga. 

 

Okusooka Sheikh Aziizi Bukenya Kimirante yayogedde ebimu ku bintu Lukwago by’akoledde Abasiraamu ne Bannakampala okuli okutaasa ettaka ly’Obusiramu e Nateete, okutaasa ettaka ly’omuzikiti e Nalukolongo era ne bazimbawo omuzikiti gwa kalina, okulwanirira bamufunampola, okuteekawo omuzikiti omutongole ku City Hall, okutandikawo okusiibulula Abasiraamu, okuyamba ku ddwaaliro ly’e Lubaga n’obukadde 10 okugula ekyuma kya ka ttivvi, okuyamba okuzimba emizikiti gy’e Kawempe, okuyamba ku bayizi ba yunivasite y’e Makerere Abasiraamu bwe baali bagula mmotoka ya Coaster n’ebirala. 

 

Akulira ettwaale lya Kampala mu ofiisi ya Super Supreme Mufti, Sheikh Hussein Ssekajja yeebazizza Lukwago olw’obukulembeze obubadde bulumirirwa abantu. 

 

Omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Yinginiya Benon Kigenyi yamugeraageranyizza ku Musa mu Bayibuli.  Lukwago yeebazizza Allah olw’okumusobozesa okukulembera ekibuga emyaka 15 n’agamba nti avuddeko talina nziro yonna. 

 

Omukolo ogwategekeddwa ku City Hall ku Lwokuna gwetabiddwaako badayirekita ba KCCA, abakulira emizikiti egy’enjawulo mu kibuga, abakulembeze b’abasuubuzi okuva mu butale n’amaduuka ssaako abayo

Tags:
City Hall
Loodi mmeya