Amawulire

Poliisi efulumizza amannya g'abantu abaafiridde mu kabenje akaabaddemu bbaasi n'emmotoka endala eya Noah.

Poliisi e Bushenyi, efulumizza amannya g'abantu abaafiridde mu kabenje akaabaddemu bbaasi n'emmotoka endala eya Noah.

Poliisi efulumizza amannya g'abantu abaafiridde mu kabenje akaabaddemu bbaasi n'emmotoka endala eya Noah.
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Bushenyi, efulumizza amannya g'abantu abaafiridde mu kabenje akaabaddemu bbaasi n'emmotoka endala eya Noah.

Akabenje kano, kaagudde ku kyalo Rwentojo ku luguudo oluva e Bushenyi okudda e Mbarara, bbaasi ya Tawusi nnamba UA 707 AK bwe yatomereganye ne Noah nnamba UA 196A Y abantu babiri ne bafa n'abalala 10.

Abaafudde, kuliko Kellen Musimenta n'omwana Jones Shabomwe nga babadde batuuze b'e Rushasha e Isingiro.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, agambye nti baddereeva bombi tebalabikako era babanoonya.

Agasseeko nti abaafunye ebisago, abamu baatwaliddwa ku KIU teaching hospital ne Ishaka Adventist Hospital okufuna obujjanjabi.

Ategeezezza nti akabenje kandiba nga kaavudde ku bulagajjavu bw'omuvuzi wa bbaasi eyabadde avugisa ekimama.

Tags:
Noah
Kabenje
Bushenyi