Bya Frank Ssentongo
ESSIGGA Eddamuzi litegese omusomo ku mateeka ogutuumiddwa GUMZO n'ekigendererwa ky'okumanyisa abantu engeri gyebasobola okutabaganamu nga bali ebweru wa kkooti.
Akulira akakiiko ka ssemateeka Nobert Mao ategeezezza nti omusomo guo gugenda kubeera ku Mystil Hotel e Nsambya okuva nga 9 okutuuka nga 13 omwezi guno.
Mao ategeezezza nti omusomo guno gugenda kubaanu bannamateeka okuva mu mawanga amalala babangule bannayuganda mu nsonga z'amateeka
Mao ayongeddeko nti abantu abasinga balowooza nti bappuliida bokka bebalina okumaliriza enonga naye ng'amazima gali nti n'okutabagana kikulu nnyo ebweru wa kkooti ssaako n'okukendeeza ku buzito bw'ekibonerezo ekyandimuweereddwa
“ Abantu abagenda okwetaba mu musomo guno mulimu; Abazzi b’ebisango, abatabaganya. Era omukolo guno gugenda kukunganya abatesitesi bamateeka ssaako ne abantu abagwa mu ssiga eddamuzi…” Mao bwategeezezza.