ABAVUBUKA Basatu abeebijambiya abagambibwa okuyingirira omutuuze e Katabi ne beekweka mu ngalama y'ennyumba, poliisi n'amagye babakukunuddeyo n'ebizibiti.
Ensasagge, ebadde ku kyalo Kabaale B waadi mu ggombolola y'e Katabi e Ntebe, abeebijambiya bwe balumbye omutuuze Patrick Kagenda Amooti 63, ne bamunyagako ebintu ne batwaliramu n'ebya kitaawe Prof. Charles Kagenda Atwoki.
Babanyazeeko shs 570,000/ n'essimu ekika kya Samsung Galaxy Note 10 n'ebintu ebirala kyokka ne basobola okutemya ku poliisi etuuse mu budde , n'ebasalako nga bakyali mu nnyumba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire yagambye nti, babasanze waggulu mu ngalama nga beekukumye, ne babakwata era nga kuliko Acram Ssekitooleko , Robert Oluka, Bashir Mbaziira era nga babasanze n'essimu ebadde ebbiddwa wamu ne ssente 240,000/=
Agasseeko nti babasanze n'ebyuma ebimenya amayumba. Okubuuliriza kugenda mu maaso okuzuula bannaabwe, be baludde nga bakolagana nabo, mu bubbi obw'ekika kino.