Amawulire

Maama wa Ssegirinya asattira lwa butamuwa buyinza kuddukanya mmaali ya mutabani we

Maama w’eyali omubaka wa Kawempe North, Ibrahim Ssegirinya asattira olwa Ofiisi ekola ku nsonga z’abafu (Administrator General) okuwa bannamwandu obuyinza okuddukanya emmaali y’omugenzi, ye ne bamuleka ebbali.

Maama wa Ssegirinya asattira lwa butamuwa buyinza kuddukanya mmaali ya mutabani we
By: Wasswa Baker Ssentongo ne Kizito Musoke, Journalists @New Vision

Maama w’eyali omubaka wa Kawempe North, Ibrahim Ssegirinya asattira olwa Ofiisi ekola ku nsonga z’abafu (Administrator General) okuwa bannamwandu obuyinza okuddukanya emmaali y’omugenzi, ye ne bamuleka ebbali.

 

Kiddiridde Kkooti Enkulu mu Kampala okufulumya ekiwandiiko nga March 2, 2026 ekiwa bannamwandu abalina abaana obuyinza bw’okuddukanya emmaali y’omugenzi okuli; Fatuma Nanfuka, Mariam Nakabuye, Shamim Namutebi ne Esther Namugalu nga buli omu yazaala omwana omu mu mugenzi.

 

Bannamwandu baalagiddwa okulanga mu mawulire, nga ssinga wayitawo ennaku 14 nga tewali avaayo na kwemulugunya kwa ssimba, kkooti ejja kugenda mu maaso n’okubawa obuyinza obujjuvu okuddukanya emmaali y’omugenzi yonna.

 

Bannamwandu okuli Nakabuye ne Nanfuka baagambye nti, okuva Ofiisi ekola ku nsonga z’abafu lwe yabawa obuyinza, waliwo abantu ababakubira amasimu nga beeyita balooya ba maama wa Ssegirinya nga babagamba okuzzaayo ebiwandiiko ewa Administrator General.

 

“Ebintu byonna biyise mu mitendera emituufu kuba Ssegirinya bukya afa tewali muganda wa Ssegirinya wadde nnyina, yali agulidde baana baffe wadde kkiro ya ssukaali”, bwe baagambye.

 

Baagambye nti, ekisinga okubeewuunyisa kwe kuba nga bwe baamala okukebeza abaana DNA abaana abamu ne bawandulwa era waliwo bannaabwe abaasigala mu nnyumba z’e Mpereerwe ne Kawanda nga bakung’aanya ssente. Waliwo ne mikwano gy’omugenzi egyefunza ebintu ebimu.

 

Eky’okuleka maama wa Ssegirinya ebbali baagambye nti, ye yagaana n’abivaamu ne yeekandagga nga tayagala bannamwandu baweebwe buyinza.

 

“Tusaba abazirakisa batuyambe batusasulire ssente z’ekirango mu mawulire kuba kati ze zikyasibye ebintu okutambula”, nnamwandu Nanfuka bwe yagambye.

 

Bukedde yakubidde maama wa Ssegirinya essimu okubaako ky’ayogera naye olwamweyanjulidde yayanukuzza busungu nti; “Nnakoowa saagala kwogera na baamawulire”, era n’aggyako essimu.

 

Looya wa maama wa Ssegirinya, Lawrence Mwanje yagambye nti, wakyaliwo ensonga ezitannagonjoolwa ze bakola ku by’okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi z’atayinza kwogera mu mawulire.

 

Ali Senkunda eyali mukwano Nanfuka ne Nakabuye abamu ku bannamwandu ba Ssegirinya. Kozesa Vision Digital Experience olabe vidiyo.

 

gw’omugenzi Ssegirinya yagambye nti, ebintu bya Ssegirinya ebimu byatundibwa dda mu bukyamu abantu be yayise abaluvu.

 

Palamenti ekyatubidde n’omusimbi gwa Ssegirinya obukadde 400 olwa ffamire ye okulemererwa okukkaanya ku ani omutuufu alina okuweebwa ssente zino.

 

Ssente za Ssegirinya kuliko ez’akasiimo ke akasoba mu bukadde 250, n’ez’amabugo obukadde 158, ezitaweebwangayo mu baffamire n’okutuusa olwaleero.

 

Ebyobugagga ebirala bye yaleka mulimu; ennyumba z’abapangisa ez’omulembe eziri e Kawanda mu disitulikiti y’e Wakiso, amaka e Bulamu mu Kasangati Town Council, ettaka okwali ffaamu y’embuzi e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono, ennyumba z’abapangisa eziri e Nammere-Mpereerwe, endagaano za poloti bbiri ng’eno Ssegirinya kwe yasulanga ng’akyali kansala wa KCCA n’endagaano za poloti bbiri e Wakiso.

 

Ssegirinya 37, eyali omutuuze w’e Bulamu mu Kasangati Town Council yafiira mu ddwaaliro e Lubaga nga January 9, 2025 oluvannyuma lw’okulwalira ekiseera.

Tags:
Ssegirinya
Kusattira
Maama
Kuddukanya
Kudduka
Kumuwa
Mmaali