Amawulire

Poliisi ekyabuuliriza ku ngeri omwana ow'emyaka 8 gye yafiiridde mu ddaamu

Poliisi e Iganga eri mu kubuuliriza ku ngeri omwana omulenzi ow'emyaka 8 gy'afiiridde mu ddaamu y'amazzi .

Poliisi ekyabuuliriza ku ngeri omwana ow'emyaka 8 gye yafiiridde mu ddaamu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Iganga eri mu kubuuliriza ku ngeri omwana omulenzi ow'emyaka 8 gy'afiiridde mu ddaamu y'amazzi .

Omulambo gw'omwana ono, gusangiddwa mu ddaamu eri mu Tembo factory e Iganga era nga poliisi egunnyuluddeyo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro, okwekebejjebwa.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, ategeezezza nti mu February ng'atandika omwaka guno, era waliwo omwana omulala eyafiira mu ddaamu eyo.

Agasseeko nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula oba nga waliwo obulagajjavu.

Tags:
Amawulire
Wamyaka
Poliisi
Iganga