Minista omubeezi ow'ebyettaka Dr.Sam Mayanja alagidde abatuuze abasoba mu 300 okudda ku bibinja byabwe byebagula ku ttaka lya masiro ge Wamala kyokka ne bagobaganyizibwa.
Abatuuze abakulembeddwamu Ali Bukenya baloopedde minista nga bwebagula ebibanja okuva ku batwala amasiro gano era baakola endagaano kyokka kyababukako abantu okuva e mmengo okubagoba ku ttaka lino nga tebaliyiriddwa ssente zebaagula plot zino emyaka 13 emabega.

Minisita Mayanja ng'ayogera
Minista Mayanja wano weyasinzidde n'alagira bonna abaguzibwa plot ku ttaka lino okukozesa ebifo byabwe n'alagira RDC wa Nansana charles Lwanga na kakiiko kebyokwerinda okuwa obukuumi abatuuze nga badda mu bibinja byabwe.
Abatuuze basiimye Minista ne RDC Lwanga olw'okusala amazima kuba bangi baali bagaAnibwa yadde okuddamu okusima kabuyonjo mu bibinja byabwe ekibadde kiteeka ebyobulamu bwabwe mu matigga