POLIISI e Matugga ekutte n’eggalira abavubuka babiri nga bano ebadde emaze ennaku bbiri nga ebalinnya akagere ku bigambibwa nti baawamba omwana olwo ne bakanda bazadde be omusimbi oguweza obukadde 40 okumubawa.
Omwana ono naye yanunuddwa era wadde yabadde mu mbeera mbi olw'embeera gy’abadde ayisibwamu poliisi esobodde okumuddiza bazadde be.

Owoyesigyire nd'addiza omuzadde omwana we
Shakib Ntege ne Godfrey Sserwanja nga bano poliisi ebadde emaze ennaku nga ebalinnya akagere, be baakwatiddwa lubona n'omwana ow'emyaka 3 nga kigambibwa nti bano baawamba omwana ono olwo ne batandika okukanda bazadde be omusimbi oguweza obukadde 40.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire agamba nti baafuna okubagulizibwako bazadde b'omwana ono mu budde era ye nsonga lwaki omwana ono yanunuddwa nga tannatuusibwako bulabe.
Kati olwaleero ku mmande omwana akwasiddwa bazadde be mu butongole ng’amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke owoyesigyire y’amukwasizza abazadde.

Abazigu abaabadde bawambye omwana nga bakwatiddwa
Ono abasuubizza abazadde nti baakulafuuna ennyo okulaba nga bano bafuna obwenkanya kuba obujilizi obubaluma bamaze okubukung’aanya.
Jajja w'omwana Elizabeth Kabeeyogerere gwe tusanze ku ddwaaliro ng’akyajjanjaba omwana, asiimye abeebyokwerinda naddala poliisi olw’omulimu ogw’ettendo gw’ekoze okununula omuzzukulu nga mulamu.