Omusajja agambibwa okuwalampa ekikondo ky'amasannyalaze amangi n'ekigendererwa ky'okubba waya n'ebikondo, gamukubye ne gamuttirayo.
We tukoledde eggulire lino, ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti abaserikale nga bali wamu n'abekitongole kya UEDCL, babadde bakola butaweera okuggyayo omulambo gw'omusajja ono waggulu ku bikondo gye gulengejjera.