Omuvubuka abadde atambulira ku bodaboda ne banne abalala ne balimba omutuuze w'e Kajjansi nti emmotoka ye ebaddeko ekikyamu n'ekigendererwa eky'okumubba, poliisi emukutte.
Julius Sekyondwa nga makanika nga w'e Kanaawa e Nateete, y'akuumirwa ku poliisi ku bigambibwa nti abadde agezaako okubba RDC Patrick Mubiru ku luguudo lw'e Namugongo.

Ssekyondwa eyakwatiddwa
Kitegeezeddwa nti baasoose kugezaako okumuyimiriza nga bamugamba ng'emmotoka ye bw'ebaddeko ekikyamu, naye ng'ekigendererwa kyakumubba.
Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti RDC, asobodde okutemya ku boobuyinza mu bwangu ne bakwatako omu.
Omukwate, ategeezezza poliisi nti bakolera mu kibinja ky'abantu 9 nga bakulirwa Kalidasi amanyiddwa nga Captain Ronny,era nga kuliko Nyanzi, Ivan, Pius, Pattern, Sam ne Richard nga batambulira ku pikipiki ne bayimiriza emmotoka nga bamulimba ng'eriko ekizibu nti oli bw'ayimirira nga bamubbako ebintu.