Omusomesa agambibwa okutulugunya omuyizi n'amutusaako ebisago eby’amaanyi olw'ebigambibwa nti yabbye 5000/, akwatiddwa poliisi.
Fredrick Bukenya 28, omutuuze w'e Nalyagonja mu ggombolola y'e Kalangaalo e Mityana, y'akwatiddwa poliisi ne bamuggalira e Mityana.
Ono musomesa wa Nalyagonja Bright way Junior era nga n'omuyizi gy'asomera.
Babadde bamulumiriza okubba ssente ne 5000/=.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti bazadde b'omwana beekubidde enduulu era ne bamukwata.