ALEX Baboineka Kyakulagira y'asse muliraanwa we Patrick Muhumuza Bagonza lwa nkaayana za kibanja.
Ettemu lino lyabaddewo ekiro ky'olwokuna mu bitundu by'Entebe Kabaale, kkanisa zone mu Katabi town Council.

Alex Baboineka agambibwa Okutta Bagonza
Bagonza 50, kati omugenzi abadde akola ne kkampuni y'obwannanyini enkuumi eya NEC oluvannyuma lw'okuva mu magye gye yali aweerereza.
Namwandu wa Bagonza Hope Mugiramatsiko gwe twasanze ku ggwanika e mulago yategeezeza nga bba bw'aludde ng’alina obutakkaanya ne muliraanwa era nga obuzibu bwava ku Baboineka kubuuka kkubo n'azimba omwala mu poloti ya Bagonza n'azimbako n'ekikomera.
Yaggaseeko nti olw'okuba bba yalinga tabeerawo era oluvannyuma lw'okusanga Baboineka ng’azimbye mu poloti ye yasalawo okuzimbira ku kikomera Baboineka kyey ali asitudde mu plot ye n'azimba enju ye eya kalina.

Mugiramatsiko Ne Muwala We Ku Ggwanika E Mulago Ng'anonye Omulambo Gwa Bba.
Mugiramatsiko agamba ku Lwokuna bba lw'attibwa yakomawo ku ssaawa 2:00 ez'ekiro era yamusanga amaliriza kuteekateka kyaggulo n'ayingira mu nju n'asitula omwana we.
Yategeezeza nti yali akyalua ekyeggulo yategeeza bba nga omwala bwe gwali gujjuddemu obucaafu olwa mukoka eyali agujjuzaamu ettaka n'amayinja era nga gwali guzibikidde era kwe kufuluma ekikomera n'omwana okugulaba asobole okukeera okugulongoosa.
"Nze bandeka ndi mukulya wabula ngenda okuwulira oluyoogaano wabweru ne ngendayo era nagenda okutuuka nga Baboineka ali m ukumukuba nga ye bwe yeetaasa n'omukono gumu n'okugulu kuba yali akutte omwana ne mumuggyako ne ngenda mu nju.
Nagenda okudda okumutaasa namusanga agudde wansi ng’ayiriitira buyiriitizi nga Baboineka akyaliwo awaga nga bwe yali amumaze era nange bw'asobola okunzita nga yali waakuzzaako naalongo omu ku batuuze ku kyalo." Mugiramatsiko bwe yategeezeza.

Omugenzi Patrick Bagonza Bw'abadde Afaanana
Yategeezeza nga Baboineka bwe yakozesa ejjinja lye yamukuba mu kyenyi ne ku nkoona era nga yagezaako okunoonya abayinza okumuyamba wabula n'alemererwa okutuusa lwe yamufaako nga alaba kuba n'owa bodaboda gweyali afunye yagaana okumutwala n'aggyawo omulambo n'agussa mu mu kikomera okutuusa poliisi lwe yajja n'egutwala mu ggwanika.