POLIISI ng'egenda mu maaso n'okufeffetta ababbi b'ente , abakulira abakinjaagi mu Kampala , balabudde abantu okubeera abeegendereza mu bifo gye bagula ennyama.
Kiddiridde poliisi okukwata abasajja basatu e Nakulabye nga batambuliza ennyama y'ente ezigambibwa okuba enzibe , mu mmotoka ekika kya Wish nnamba UBG 345D.
Abaakwatiddwa, kuliko Ssaalongo Saka Kisiga, Hamza Ggolooba nga mukinjaagi ne John Bukenya ng'ono ye ddereeva w'emmotoka.
Kigambibwa nti ennyama eno, baabadde bagitunda 10,000/- buli kkiro so ng'ate ennyama entuufu eri ku 20,000/- n'okweyongera waggulu.
Kigambibwa nti ente zino ebbiri, baazibbye mu bitundu by'e Ziroobwe mu disitulikiti y'e Luweero, ne bazibaaga ne batambuza ennyama era nga poliisi ekyagenda mu maaso n'okufuuza abalala.
Ssentebe w'abakinjaagi mu Kampala, Hajji Musa Sennabulya, kwe kuvaayo n'alabula nti nga tugenda mu nnaku enkulu omuli paasika ne Iddi mu wiiki ejja, abantu bateekeddwa okwewala okugula ennyama mu bifo ebikyamu.
Annyonnyodde nti ennyama etundibwa mu ngeri bw'etyo , ebeera, tekebeddwa basawo, nga kiyinza okuvaako endwadde so ng'era kino kyongera okuwa ababbi , omwagaanya okugenda mu maaso n'okukaabya abalunzi.
Mu kusooka Hajji Sennabulya era asiimye omulimu ogukolebwa abaddukanya ekibuga mu kutereeza Kampala, era n'abasaba nabo okubakwatizaako okwongera obuyonjo mu bifo omutundirwa ennyama