Amawulire

Etteeka ku biyiiye likomezebwawo lwaleero mu palamenti

EBBAGO ly’etteeka ku biyiiye erya Copyright and Neighboring Rights (Amendment Bill),2025 likomezebwawo olwaleero mu Palamenti, lisomebwe omulundi ogw’okubiri, ababaka bongere okulikubaganyaako ebirowoozo.

Etteeka ku biyiiye likomezebwawo lwaleero mu palamenti
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

EBBAGO ly’etteeka ku biyiiye erya Copyright and Neighboring Rights (Amendment Bill),2025 likomezebwawo olwaleero mu Palamenti, lisomebwe omulundi ogw’okubiri, ababaka bongere okulikubaganyaako ebirowoozo.

 

Okusinziira ku lukangaga okuli ebigenda okuteesebwako olwaleero mu Palamenti, etteeka lino liri ku nnamba nnya.

Ragga dee n'abalala lwe baali boogera ku bbago ly'etteeka lino.

Ragga dee n'abalala lwe baali boogera ku bbago ly'etteeka lino.

Abayimbi ne bannakatemba balaze nga bwe beetaaga ennyo etteeka lino okuyita, basobole okufuna mu nnyimba n’emizannyo gyabwe, abantu abalala mwe bagaggawalira nga bo abaayiiya beerya nkuta.

 

Omuyimbi Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso, yavuddeyo n’asaba ababaka ba Palamenti okuyisa etteeka lino, n’agamba nti mu luyimba lwe olwa ‘Birth Day’ ssinga etteeka lino lyaliwo, yandibadde kati yagula dda n’enyonyi mu luyimba lumu lwokka.

 

Wabula okusika omuguwa okw’amaanyi kuli ku kawaayiro nnamba mwenda, akagamba nti leediyo, ttivvi, n’emikutu emirala gyonna, giteekwa okusasula abayimbi buli lwe gikuba ennyimba zaabwe.

 

Ababaka naddala David Kabanda (Kasambya) bagamba nti leediyo tezirina kusasula bayimbi kubanga buli lwe zikuba ennyimba zaabwe ate ziba zibatumbula mu bantu, mwe bayita okufuna ssente okuyita mu bivvulu n’okuyimba ku mikolo, olw’abantu okubategeera.

 

Wakyaliwo n’ebibuuzo ebirala bingi ku ngeri etteeka lino gye liyinza okuteekebwa mu nkola, kubanga lyetaaga tekinologiya ow’amaanyi n’okulondoola ennyo.

 

Abayimbi nga bakulembeddwa Pulezidenti waabwe Edirisa Musuuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo nabo balumye ejjiiko nga bagamba nti akawaayiro nnamba mwenda gwe mutima gw’etteeka, nga ssinga kaggyibwamu, babeera tebayambiddwa.

Tags:
Biyiiye
Tteeka
Kabbinkano
Palamenti
Eddie Kenzo
Musuuza
Ediriisa