Amawulire

Kkooti eragidde Chameleon okuliwa ssente ze yalya n'atayimba!

DR. Jose Chameleone atagejja, atakogga ebintu bimwonoonekedde. Kkooti emulagidde asasule bankubakyeyo obutitimbe bwa ssente, olw’okumenya endagaano gye yakola nabo, mwe baamuweereza ssente agende abayimbire, kyokka n’atalabikako! 

Kkooti eragidde Chameleon okuliwa ssente ze yalya n'atayimba!
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

DR. Jose Chameleone atagejja, atakogga ebintu bimwonoonekedde. Kkooti emulagidde asasule bankubakyeyo obutitimbe bwa ssente, olw’okumenya endagaano gye yakola nabo, mwe baamuweereza ssente agende abayimbire, kyokka n’atalabikako!

 

Bankuba Kyeyo abeegattira mu kibiina kya Uganda Diaspora Network be baawangudde omusango ogubadde mu kkooti e Mengo, nga battunka ne Chameleone ng’amannya ge amatuufu ye Joseph Mayanja.

Jose Chameleon bw'afaanana

Jose Chameleon bw'afaanana

Obujulizi kkooti kwe yasinzidde bulaga nti, Chameleon yakola endagaano ne Uganda Diaspora Network, n’abasaba 5,000 eza ddoola okugenda abayimbire ku mikolo gyabwe, nga balina n’okumusasulira entambula kw’ossa ekifo gye yalina okusula ne muwala we.

 

Bankubakyeyo byonna baabikola nga bwe baalagaana, kyokka Chameleone ye ekiseera kye bwe kyatuuka atuukirize endagaano, teyalabikako.

 

Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ento e Mengo, Yunusu Ndiwalana yakkiriziganyizza n’abawaabi era n’alagira Chameleone aseseme buli kasente ke baamuteekamu, ate ateekemu n’amagoba, akole nga eky’okuyiga eri abayimbi abalala abalina omuze gw’okukwata ssente ate ne batagenda ku mikolo gye baabapangisa.

 

BYATANDIKA BITYA?
Okusinziira ku bujulizi obwaleetebwa Shadrack Olinga, omukwanaganya w’emirimu gy’ekibiina kya Chameleone ng’ayimba, Chameleone ne bankubakyeyo baakola endagaano nga December 17, 2022, era Chameleone n’akkiriza okuyimba mu mwoleso gwa Uganda Canada Business Expo ogubeerawo buli mwaka.

 

Omwoleso guno n’enkung’aana byali bya kubeerawo okuva nga June 30 - July 2, 2023 mu kibuga Ottawa  ekya Canada.

 

Bakkaanya nti, Chameleon baalina okumusasula ddoola 5,000 okuyimba ku mikolo gino, naye nga balina okumuwaako 2,000 mu buliwo, okulaga nti, bali siriyaasi. Era zino zo baazimuweerawo.

Era bakkaanya nti, balina okumugulira tiketi y’ennyonyi era ne bagigula ku ddoola 1,129. Baapangisa n’ekifo we yali alina okusula okumala ebiro bisatu (3) ku 1,156 eza ddoola. Ku lunaku Chameleone lwe yalina okulabikako, bagamba nti, baategeka ekifo wabula baakanda kumulinda nga buteerere ate nga n’essimu tazikwata!

 

Ekyabaggya enviiri ku mutwe, kwe kulaba ng’ate omuntu gwe babadde balinda ate ng’ali mu kuyimba ku mukolo omulala e Canada, ogwa Afrofest-Toronto.

 

Omulamuzi mu nsala ye yagambye nti, Chameleone teyakoma kubula ku mukolo gwe yali amaze n’okukwata ku ssente kyokka, wabula ne mu kkooti baamuyita enfunda eziwera yeewozeeko naye teyalinnyayo.

 

Kyokka kino mu mateeka tekigaana kkooti kusala musango, era kkooti kwe kusalawo Chameleone asooke azzeeyo ssente z’abasajja 4,285 eza ddoola ze baamuteekamu, nga mu za Uganda zibeera 16,174,319/-.

 

Bw’amala awo asasule obukadde butaano (5,000,000/-) eza Uganda olw’okufiirizibwa kwe yatuusa ku banne, bwe yagaana okugenda okuyimba.

 

Ssente zino zonna, buli mwakazigenda kuba zikola amagoba, ppaka nga Chameleone azimazeeyo, okuva ku lunaku omusango guno bwe gwawaabwa mu kkooti.

 

Ezo bwazimala, era waakusasula abawaabi ssente zonna ze basaasaanyirizza mu musango.

Tags:
Jose Chameleon
kkooti
Kulagira