Amawulire

Akakiiko Pulezidenti keyassaawo okulwanyisa obubbi bw'ettaka kayingidde mu nsonga za David Lukiiza ne Ferdinand Mutaawe

AKAKIIKO ka maka g’obwapulezidenti akakola ku nsonga z’ettaka aka Presidential Special Taskforce on Land Matter akakulirwa Brig Gen Moses Lukyamuzi bayingidde mu nsonga z’ettaka erikaayanirwa wakati wa munnamawulire wa Vision Group David Lukiiza n'omwami egamba mbu ffaaza Prof Ferdinand Mutaawe Kasozi.   

Akakiiko ka Lukyamuzi nga katudde mu nsonga za David Lukiiza ne Mutaawe
By: Margret Zalwango, Journalists @New Vision

AKAKIIKO ka maka g’obwapulezidenti akakola ku nsonga z’ettaka aka Presidential Special Taskforce on Land Matter akakulirwa Brig Gen Moses Lukyamuzi bayingidde mu nsonga z’ettaka erikaayanirwa wakati wa munnamawulire wa Vision Group David Lukiza n'omwami egamba mbu ffaaza Prof Ferdinand Mutaawe Kasozi.

David Lukiiza ayagala okufuna obwenkanya ku ttaka lye e Kiteezi

David Lukiiza ayagala okufuna obwenkanya ku ttaka lye e Kiteezi

Akakiiko okuyingira mu nsonga zino kyaddiridde Mutaawe  okwekubira enduulu mu kakiiko ng’alumiriza nti Lukiiza ayagala kumusuuza ettaka lyeyagula mu 2004 okuva ku bassenga ba Lukiza Margaret Nalwanga Kiggundu ne Sarah  Nakitende bawala b’omugenzi Alfred William Kiggundu.

Ettaka erikayaanirwa lisangibwa ku kyalo Bbumbu e Kiteezi mu Wakiso distukiti ku Block 113 Plot 22 nga Faaza Mutaawe agamba yaligula mu 2004 era nabeerako okutuuka mu 2024 Lukiza bweyajja na'mutegeeza nti bwali nannyini.

Mutaawe yabadde maaso ga Brig Gen Moses Lukyamuzi n'abakulu mu kakiiko ssaako ba mbega abakola okunonyereza ku nsonga z'ettaka mu kakiiko kano n'ategeeza nti yagula yiika emu n’ekitundu kyokka teyaweebwa kyapa ebbanga eryo lyonna nga bamuguza bamusuubiza nti bajja kumuwa.

Eyeeyita Fr Ferdinand Kasozi Mutaawe ali mu nkaayana z'ettaka ne David Lukiiza

Eyeeyita Fr Ferdinand Kasozi Mutaawe ali mu nkaayana z'ettaka ne David Lukiiza

Lukiza yaabulidde akakiiko nti guno yafuna mugabo mwami Kaiza ogw'ettaka eritudde ku yiika ttaano era Mutaawe obuguzi bwe tebumanyiddwa kubanga abaamuguza teebalina bwanannyini ku ttaka lino.

Lukiza yaabulidde akakiiko nti endagaano Mutaawe zeyakola n'abaamuguza zonna tezitegerekeka kubanga zaawandikibwa mu komputa awatali ndagaano ya mukono ng'ate gyebaakola mu 2004 teraga nakitundu ki ku ttaka kyeyagula wadde obugazi bwakyo ,era teewali mujulizi yenna yaliwo kukakasa buguzi buno, ate nebongera okumuguza mu 2007 nga bongera ku lyeyasooka lyatamanyi weriri.

Mu January 2025 Mutaawe ne Lukiiza batuula ku kakiiko k’ekyalo era Mutaawe nakkiriza nti ettaka lyeyagula sirirambulukufu nakkiriza Lukiiza amuweeko awo weyali agamba nti yagula bapime era ne bakola endagaano gyebassaako omukono mu LC okwali n'abajulizi wabula oluvanyuma Mutaawe yasazaamu endagaano eno ng'agamba ssentebe w'ekyalo kino Godfrey Zzaake yamukaka okukkiriza ebya Lukiiza nga ye yali takkirizza.

Brig.Gen.Moses Lukyamuzi akulira akakiiko ka Pulezidenti akagonjoola emivuyo ku ttaka

Brig.Gen.Moses Lukyamuzi akulira akakiiko ka Pulezidenti akagonjoola emivuyo ku ttaka

Ensonga zino zetabiddwamu omukuza wa Lukiiza James Kaiza Mukasa , ssentebe w’ekyalo ZZaake, Nalwanga eyaguza Mutaawe n'abenganda abazze batambulirwako ensonga zino olwo abakulu mu kakiiko ne basoya Faaza Mutaawe ebibuuzo ku ttaka lino.

Mutaawe yavudde mu mbeera neyeefulira abakulu ng'agamba wadde yaloopa ng'asuubira obwenkayanaya naye alabika tajja kuyambibwa, kyaddiridde okumubuuza ebikwata ku ttaka lyeyagula kyokka naalemwa okubuulira abakulu ebirikwatako okuli block ne plot nnamba.

Yalemeddeko nti yagula ettaka  lino era naakolera wamu mu ngeri yokuyambako aba famire ya Kiggundu okufuna ekyapa wabula n’okutuusa kati teyakifuna.yabategezezza nti musajja muyivu era pulofeesa mulamba nga tayinza kwenyigira mu bukumpanya bwonna era yagula ettaka lino ku kyapa si kibanja wadde takifunanga emyaka 22 kati.

Ssentebe w'ekyalo okusangibwa ettaka Godfrey Zzaake nga naye mu kulu nnyo mu nsonga zino

Ssentebe w'ekyalo okusangibwa ettaka Godfrey Zzaake nga naye mu kulu nnyo mu nsonga zino

Abakulu baawulirizza bonna ababadde balina kyebateesa olwo ne balagira nti kuddamu bayitibwe okwongera okusoyebwa ebibuuzo n'okukola sitetemnti ku nsonga zino.

Brig Gen Lukyamuzi yasabye bano okubeera abagumu nti bajja kufuna obwenkanya awatali kyekuubira yenna n'abasiima okuleeta ensonga zaabwe ne batatwalira mateeka mu ngalo.

Kyokka lukiiza naye yalumirizza  Faaza ettaka erikaayanirwa okuliteekako bakanyama abalina ebijambiya n'ennyondo ekintu ky'agamba nti kyali kitabangula embeera ku kyalo.