Abantu basatu bagudde mu nnyanja Nnalubaale ne bafa, eryato mwe babadde batambulira bwe libbidde mu mazzi.
Ekikangabwa kino, kibadde ku mwalo gw'e Bugoto mu ggombolola y'e Bukabooli e Mayuge.
Abafudde tebannategeerekeka bibakwatako naye nga kuliko omukyala omu n'abaana babiri kyokka nga bo abalala abana, basobodde okubadduukirira ne bawona naye ng’era waliwo abalala abatannalabikako.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abaserikale okuva e Mayuge, bakyagenda mu maaso n'okunoonya abalala.
Bano, babadde batambulira mu lyato nga baliko gye babadde bagenda.