Amawulire

Ababbi abamenye ekirombe kya zzaabu bakubiddwa amasasi omu n'afa!

Kino kiddiridde ababbi, okumenya ekirombe kya zzaabu kya "Kayonza Gold ore mine" mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda ne bagezaako okubba ensaano ya zzaabu.

Ababbi abamenye ekirombe kya zzaabu bakubiddwa amasasi omu n'afa!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuntu omu akubiddwa amasasi agamusse mu kiro ekikeesezza leero e Kassanda.

Kino kiddiridde ababbi, okumenya ekirombe kya zzaabu kya "Kayonza Gold ore mine" mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda ne bagezaako okubba ensaano ya zzaabu.

Kigambibwa nti basanze abaserikale abakuumi b'ekirombe kino aba "Eagle Eye Security Company" bali bulindaala kwe kukubako omu amasasi agamusse abalala ne badduka.

Omugenzi ategeerekese nga Ezedi Mirundi ow’oku kyalo Namulanda mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda, era ng'omuserikale  Peter Charles Otubo agambibwa okumukuba amasasi, naye akwatiddwa mu kuyambako poliisi mu kubuuliriza ku bibaddewo, ng'omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi bw'annyonnyola.

Tags:
Amawulire kufa
Kukubwa
Babbi
Kirombe

Emboozi Ezifanagana