Omukuumi w’ekibanda awakyusibwa ssente agambibwa okukyokya n’abbamu bukadde 15 kkooti emugguddeko emisango n’asindikibwa e Luzira.
Abraham Opedum 20 omutuuze w'e Kisenyi mu disitulikiti y’e Kampala ono akola gwa bukuumi okuva mu kkampuni eyitibwa Safetic Security company yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ritah Neumbe Kidasa.

Opedum Agambibwa Okwokya Ekibanda Mu Kaguli Ka Kkooti (1)
Opedum yagguddwako emisango 4 omuli ogw’okwokya ekibanda we bakyusiza ssente kiyite Forex Bureau wamu n’ogw’okubba ssente wabula gyonna yagyegaanye.
Oludda oluwaabi mu mpaaba yalawo kigambibwa nga November 11, 2025 ku kizimbe kya Nyumbakubwa ku Arua Park mu Kampala mu bugenderevu era mu bukyamu, yakuma omuliro ogwasaanyaawo ekibanda awakyusibwa ssente.
Emisango emirala kigambibwa Opedum yanyaga obukadde 15 eza Uganda be ddoola ezisoba lukumi era nga zino zaali za kibanda ekyo ate endala nga zaali z’abantu okuli Dina Sitima ne Harriet Kakune.
Bino byonna yagyegaanye n’ategeeza kkooti ng’abantu abo abamuwaabidde bwe balina abakozi mu kibanda ekyo era be batwala ssente ezo.
Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Grace Amy yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwe kuwedde n'asaba obudde batandike okuwuliriza omusango guno.
Ono yasindikibwa ku limanda e Luzira okutuusa nga April 1, 2026 omusango we gugenda okutandika okuwulirwa wamu n’okusaba okweyimirirwa.