EKITONGOLE kya KCCA kisabye gavumenti okukyongera ssente kisobole okuddaabiriza amasomero gaayo wamu n’okugazimbira ebizimbe ebiggya okusobola okuwanirira omuwendo gw’abayizi abasomeramu.
Akulira KCCA, Hajjati Sharifa Buzeki yagambye nti ebizimbe mu masomero ga KCCA ebisinga bikaddiye nga beetaaga okuddabirizibwa wamu n’okuzimba ebirala nga gavumenti erina okuvaayo okubongera ssente okusobola okukola kino
Yagambye agamu ku masomero tegali mu mbeera nnungi olw’okuba ebizimbe bikaddiye nga byazimbibwa dda byetaaga okuddaabirizibwa nga ebya Nakasero Primary School ebyazimbibwa mu 1938 nga mu budde obwo abantu baali batono mu Kampala nga n’ebibiina bazimba kusomerwamu abaana batono wabula nga kati omuwendo gweyongeddenyo.
Yategeezezza nti ebirala ebirina okukolebwa mu masomero gano kuliko okuzimba amaterekero g’ebitabo, kaabuyonjo ez’omulembe kuba kati amasomero ensangi zino gasomerwamu abaana abasukka 1500.