Amawulire

Balaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abakonziba ogweyongera buli lukya

ABAKULIRA disitulikiti y’e Kiryandongo balaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abakonziba ogweyongera buli lukya ate nga y’emu ku zisinga okulima emmere.

Balaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abakonziba ogweyongera buli lukya
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

ABAKULIRA disitulikiti y’e Kiryandongo balaze obwennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abakonziba ogweyongera buli lukya ate nga y’emu ku zisinga okulima emmere.

 

Kiryandongo emanyiddwa mu kulima Kasooli, ebinjanjaalo ne muwogo ng’abakugu mu byendiisa y’abaana bagamba nti yadde bino babirima naye tebamanyi kubikozesa ekiviirkoa abaana okukonziba.

 

Akulira abakozi mu disitulikiti eno Aclem Kyaligonza, atwala ebyobulamu Dr.Irene Nabitaka n’omubaka wa Pulezidenti Dan Muganga basinzidde ku kitebe kya disitulikiti mu nsisinkano n’abakungu okuva mu kitongole ky’Ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya UNICEF , ne balaga okusoomoozebwa okuvaako abaana okukonziba mu disitulikiti eno.

 

Kyaligonza yagambye nti basoomoozebwa olw’abakozi abatono mu malwaliro n’amasomero ssaako ebbula ly’ebikozebwa eriva ku muwendo gw’ababundabunda ogweyongera buli lukya ng’omwezi bayingiza abatakka wansi wa 400.

 

Kyaligonza yategeezezza nti disitulikiti eno erimu amawanga 82, okuva mu mawanga ag’enjawulo okuli Southern Sudan, Sudan, Congo ssaako ne Bannayuganda abasengulwa mu bitundu ebirimu okubumbulukuka kw’ettaka ekireesewo enkaayana z’ettaka n’obwetaavu bwebikozesebwa okubeera waggulu.

Tags:
UNICEF
Baana
Muwendo
Kukonziba
Kweyongera
Lukya