Amawulire

Ebyabadde mu kafubo ka Paapa Leo e Roma n'Abasumba b'Eklezia 17 aba Uganda

ABASUMBA b’Eklezia mu Uganda 17, basisinkanye Paapa ne bamwanjulira ebituukiddwako mu myaka etaano ne bye bateekateeka okukola mu myaka etaano egijja.

Ebyabadde mu kafubo ka Paapa Leo e Roma n'Abasumba b'Eklezia 17 aba Uganda
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

ABASUMBA b’Eklezia mu Uganda 17, basisinkanye Paapa ne bamwanjulira ebituukiddwako mu myaka etaano ne bye bateekateeka okukola mu myaka etaano egijja.

 

Bano abeegattira mu kibiina kya Uganda Episcopal Confrence (UEC) abakulembeddwamu ssentebe waabwe omusumba w’Essaza ly’e Mityana, Dr.Joseph Anthony Zziwa beevumbye akafubo ne Paapa  Leo VIX ne bamwanjulira ebigenda mu maaso mu massaza gaabwe ne alipoota z’ebitongole eby’enjawulo.

 

Omusumba Zziwa bwe yabadde ayogerako eri bannayuganda ababeera e Roma ng’ali wamu n’Abasumba abalala okuva mu Uganda okwabadde Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere n’abalala ku Lwomukaaga yategeezezza nti okuva nga March 15, lwe baatuuka e Roma baasisinkanye abakulu ab’enjawulo mu Eklezia okuli n’omutukuvu Paapa LeoXIV gwe baasisinkanye ku Lwomukaaga.

 

Yagambye nti mu nsisinkano yaabwe ne Paapa bamwanjulidde alipoota ekwata ku bigenda mu maaso mu Eklezia mu masaza ag’enjawulo mu Uganda ssaako n’alipoota z’ebitongole by’Eklezia eby’enjawulo.

 

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Abasumba 17 ku 19 abakulembera amasaza ag’enjawulo ng’abataabaddeyo kuliko Omusumba w’Essaza ly’e Lugazi Christopher Kakooza ssaako omusumba w’Essaza ly’e Jinja eyafa omwaka oguwedde nga lino mu kiseera kino lirabirirwa Ssaabasumba Obbo.

 

Omusumba Zziwa yagambye nti beeyamye okugenda mu maaso nga batambulira wamu n’omutuukuvu Paapa wansi w’okulung’amizibwa kwe.

 

Abasumba balambudde bannayuganda ab’enjawulo e Roma okuli bannaddiini abali ku misomo ssaako okusisinkana omubaka wa Uganda e Roma ne bawayaamu.

 

Babakubirizza okwongera okuwanika ekifaananyi kya Uganda ne Eklezia ate n’okujjukira okudda mu Uganda okukozesa obukugu bwe baafunye okuzimba Eklezia n’eggwanga lyonna.

 

Yeebazizza bannayuganda abakulembeddwa Rev.Fr.Alex Sseremba olw'okubaaniriza obulungi ku bugenyi buno  era ne babakubiriza okusigala nga bali bumu n’Eklezia mu Uganda.

 

Mu nsisinkano ne Paapa Leo XIV, ku Lwomukaaga, Abasumba bano nga bakulembeddwa omusumba Zziwa baatonedde Paapa ekirabo naye n’abasabira omukisa ogw’enjawulo.

 

Okusinziira ku ntereeza y’Eklezia buli luvannyuma lwa myaka etaano Abasumba b’Eklezia mu nsi yonna basisinkana Paap ne bakubanganya ebirowoozo ku ntambula y’emirimu n’okumwanjulira bye babeera bateekateeka okukola mu myaka etaano egiddako.

 

Paapa LeoVIX ,yalondebwa May 8, 2025 nga paapa ow’e 267, ng’adda mu bigere by’omugenzi Paapa  Francis.

Tags:
Paapa
Kafubo
Uganda
Roma
Paapa Leo