OMUJAASI avunaaniddwa kulagajjalira masasi ng’ali mu ddwaniro e Somalia.
Avunaaniddwa okulagajjalira amasasi 120 agaali gakola obulungi ne gabula.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga December 12,2024 e Somalia mu kitundu kye bayita Soljare yalagajjala amasasi ago ne gabula.
Omuwaabi wa gavumenti 2lt Anthony Olupot asabye kkooti ekulirwa Col. Patra Asha owa kkooti ya magye e Makindye babaweemu wiiki bbiri basobole okufuna abajulizi gye bali omusango gutandike okuwulirwa.
Nahwera atwaliddwa mu kkomera lya magye e Makindye okutuusa nga April 22, 2026 lw’anazzibwa mu kkooti okuwulira obujulizi.