ABAJAASI ba UPDF basatu abaalagajjalira ennyonyi y'eggwanga ekyagiviirako okugwa e Somalia ,basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Abavunaanibwa mu kaguli ka kkooti.
Emisisango gibasomeddwa omulamuzi Col Frederick Kanfwamu owa kkooti y'amagye e Makindye. Bavunaaniddwa gwa kukola ebikolwa ebikyamu ku bikwatagana n’entambula z’ennyonyi era ne babyegaana.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano nga September 19, 2024 ku kisaawe kya Baledogle e Somalia mu ngeri y’obulagajjavu baasindika ennyonyi AUO-004 ey’ekibinja kya UPDF -ATMIS ,ekyagiviirako okugwa mu bukyamu n’esaanaawo.
Omuwaabi wa gavumenti, 2Lt Phillip Olupot ategeezezza kkooti nti okunoonyereza kumpi kuwedde n’asaba baweebwe olwa April 1, 2026 okutandika okuleeta abajulizi.
Abawaabi ba gavumenti abalala kuliko Capt Alex Mukhwana, 2Lt Irene Komuhendo ne 2Lt Davis Bagonza ate Abawawaabirwa bawolerezebwa Elizabeth Nyansingwa ne Capt. Daniel Kagombe.
Basindikiddwa mu kkomera Lya magye e Makindye okutuusa nga April 8, 2026 kyokka bategeezezza nti era baakusaba okweyimirirwa.