Vision Group ng'eyita mu lupapula lwa Bukedde ne Newvision zikwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okutunda emijoozi gy’emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka mu Uganda yonna.

Akulira okutegeka ebivvulu mu kkampuni ya Vision group Fiona Tamale ng'akwasibwa emijoozi.
Leero omumyuka wa Katikkiro asooka, Polofeesa Hajji Twaha Kigongo Kaawaase akwasizza omukung’aanya w’olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa Ssebbowa n'akulira okutegeka ebivvulu mu kkampuni ya Vision group Fiona Tamale emijoozi gy'emisinde gino ku Bulange e Mengo.
Kaawaase asinzidde wano n’atendereza kkampuni ya Vision group olw'omulimu gw'ekola ogw'okubunyisa amawulire agakwata ku bBwakabaka naddala emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka okuviira ddala mu ntandikwa yaagyo.
Asabye Bannayuganda bonna okwongera okuwagira n'okuwuliriza emikutu gya vision group gyonna ssaako okusoma empapula z’amawulire okuli olwa Bukedde ne Newvision okwongera okumanya ebikwata ku nteekateeka z'emisinde zino n’ebigenda mu maaso mu nsi.

Emijoozi egyaleeteddwa oweek. Kaawaase (Wakati)
‘’Buli agula omujoozi guno aba atadde etoffaali ku nteekateeka ya Kabaka ey'okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya’’ Hajji Kaawaase bwe yategeezezza
Ye omukung’aanya wa Bukedde Ssebowa akunze abantu okugenda ku kitebe kya Vision Group okusobola okufuna emijoozi gino ku 25,000 zokka, okwewala okuseerebwa ku ssaawa envanyuma.
Agambye nti ng’oggyeeko okutunda emijoozi gino, emikutu gya Vision Group gibadde misaale mu kumanyisa abantu ku bikwata ku kawuka ka mukenyenya n’ensonga ezikwata ku bwakabaka, n’asaba abantu okwetaba mu nteekateeka eno okulaba nga tutuuka mu 2030 ng’ekirwadde kya mukenenya kirinnyiddwa ku nfeete.
Agambye nti Vision Group ng’emu ku zisinga obunene mu ggwanga yaakukola kyonna ekyetaagisa ng’ekolaganira wamu ne Katikkiro Peter Mayiga okulaba ng’ekirooto kya Kabaka eky’okutunda emijoozi emitwalo 13, ku mulundi guno kituukirira.
Emisinde gino gyakubeerawo nga April 12,2021, nga givugiriddwa amakkampuni ag’enjawulo okuli Vision Group,Airtel n’abalala.