Amawulire

Omusuubuzi eyattibwa e e Sheema akwasizza abalala 4!

Poliisi e Sheema ekutte abantu abalala bana, ku ky’okutta omusuubuzi w'e Rutooma e Sheema.

Omusuubuzi eyattibwa e e Sheema akwasizza abalala 4!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Sheema ekutte abantu abalala bana, ku ky’okutta omusuubuzi w'e Rutooma e Sheema.

 

Edson Betware yattibwa nga 28 July 2025 e Rutooma cell, abatemu bwe baamulumba n'okumubba era embwa ya poliisi n'eyambako okuzuula abantu basatu.

 

Abaasooka okukwatibwa, kuliko Mashudi Oyo Kaweesi, Hussien Kato Jjingo ne Mazinga Mukombozi era bali ku alimanda.

 

Abana abalala abakwatiddwa, kuliko Ovid Nahamya amanyiddwa nga Akram, Cosma Tayebwa , Jordan Amanya amanyiddwa nga Piza, Naboth Natuhamya nga yeeyita Kayana n’abalala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, agambye nti bano, nabo bagattiddwa ku ffayiro eyasooka nti n'oluvannyuma , batwalibwe mu kkooti ku misango gy'okubbisa eryanyi n'okutta.

Tags:
Sheema
Rutooma
Mashudi Oyo Kaweesi