Poliisi e Sheema ekutte abantu abalala bana, ku ky’okutta omusuubuzi w'e Rutooma e Sheema.
Abaasooka okukwatibwa, kuliko Mashudi Oyo Kaweesi, Hussien Kato Jjingo ne Mazinga Mukombozi era bali ku alimanda.
Abana abalala abakwatiddwa, kuliko Ovid Nahamya amanyiddwa nga Akram, Cosma Tayebwa , Jordan Amanya amanyiddwa nga Piza, Naboth Natuhamya nga yeeyita Kayana n’abalala.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Bushenyi, Apollo Tayebwa, agambye nti bano, nabo bagattiddwa ku ffayiro eyasooka nti n'oluvannyuma , batwalibwe mu kkooti ku misango gy'okubbisa eryanyi n'okutta.