ABAZIGU abatambulira ku bodaboda ne balondoola abantu abalina ssente balumbye omusuubuzi abadde ayingidde bbanka okuziterekayo emisana ttuku ne bamukuba ne bamutwalako ensawo mwe zibadde.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala yagambye nti abazigu kirabika bazze bamulondoola.
Yategeezezza nti okunoonyereza poliisi ya CPS yakutandise era etandise okwetegereza ebifaananyi ebyakwatiddwa kkamera zaayo ez’oku nguudo era nga waliwo ffeesi ze bategeddeko nga be bamu abazze bakwatibwa mu bubbi naddala mu kulondoola n’okukuba abantu abatambula ne ssente.
Yasabye abantu bonna abatambula ne ssente okutuukirira poliisi ebawe obukuumi okusobola okutangira abazigu okubalumba
Abazigu bano we babbidde omuusubuzi nga poliisi yaakakwata abazigu abalala abalondoola omuntu nga balina ejjambiya ne bamubbako ensawo omuli ssente obukadde 63 mu ppaaka ya ttakisi mu Kisenyi ku kizimbe ya Gwanda.
Ensonda zaategeezezza nti abamu ku bazigu abeenyigidde mu kulumba ókubba ssente kuliko Mugisha, Lukwago Zenda , Kayiira n’abalala.