Amawulire

Minisita Magezi yeeyambudde obuyinza ku bya kalulu k'abassentebe

MINISITA wa Gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi  asobeddwa ababaka ba palamenti bwe bamutabukidde ku nsonga y'okulondebwa kwa ba ssentebe ba LC1, LC2 ne bannaabakyala b'ebyalo n’abajuliza minisitule y’ebyensimbi n’akakiiko akavunaanyizibwa ku kulondesa.

Minisita Magezi yeeyambudde obuyinza ku bya kalulu k'abassentebe
By: Teopista Nakamya, Journalists @New Vision

MINISITA wa Gavumenti ez'ebitundu Raphael Magyezi  asobeddwa ababaka ba palamenti bwe bamutabukidde ku nsonga y'okulondebwa kwa ba ssentebe ba LC1, LC2 ne bannaabakyala b'ebyalo n’abajuliza minisitule y’ebyensimbi n’akakiiko akavunaanyizibwa ku kulondesa.

 

Abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z'abakozi ba Gavumenti mu Gavumenti ez'ebitundu ( Public Service and local government) okwanja bajjeti ya minisitule.

 

 

Olwamalirizza okutegeeza akakiiko okusaba kwabwe, ssentebe w'akakiiko  Pius Wakabi(Bughya ) amujjukizza ku bukulu n’omulimu bassentebe b'ebitundu gwe bakola n’amusaba atangaaze ddi okulonda lwe kunabaayo.

 

 

Mu kunnyonnyola, yakikkaatirizza nti okusinziira ku lukiiko lwe baalimu nga kabbineeti baasalawo okulonda kubeewo wakati wa March ne April ng'okulayira kw'ababaka abalonde ne pulezidenti tekunnabaayo.

 

Yabadde akyannyonnyola nti amakya ga leero minisitule y'ebyensimbi yamutegeezezza nga ssente bwe zaalabise omubaka Betty Ethel Naluyima ( Mukazi/ Wakiso) n’amwambalira.

 

Mu ddoboozi ekangufu yategeezezza minisita okukoma okubagamba ebigambo bye yayogerera edda ku ssengejjero ly’amawulire(Media Centre)  oluvannyuma lw’obutawuliramu kipya.

 

Yasabye akakiiko aweebwe akadde akamala ku nsonga eno atangaaze eggwanga oba nga ddala kulonda kanaabaayo.

 

Magyezi alagidde akakiiko okozesa obuyinza bwako okuyita minisitule y'ebyensimbi n'akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulondesa mu ggwanga nti kubanga obuvunaanyizibwa bwe tebumulagira kutegeka akalulu.

 

 

Bannayuganda baasemba okulonda ba ssentebe mu 2018 nga obuwumbi 56 bwe bwetaagisa okuddamu okutegeka akalulu kano.

Tags:
Magezi
Kalulu
Bassentebe
Kweyambula