ABATUUZE ku kyalo Wambaale ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bagguddemu ekyekango bwe basanze omusajja gwe batategeera nga bamusse omulambo gwe ne gusuulibwa mu kasaka.
Abatuuze bagambye nti omusajja ono tamanyikiddwa mu kitundu kyabwe kuba kyandiba nga bamuleese buleesi ne bamusuula mu kifo kino.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti poliisi etuuse ne yeekebejja omulambo nga kiraga nti omuntu ono batuze mutuge era nga kati balindirira alipoota y’abasawo.
Wabula, asabye abantu abayinza okuba nga babuuiddwako abantu baabwe bagende ku poliisi y’e Matugga esobole okubannyonnyola ebisingawo wano nga bwe bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza.