Amawulire

Omukazi asaze ofiisa mu gavumenti z'ebitundu obulago n'amuttirawo lwa kumucanga ne muggya we

OMUKAZI asaze ofiisa mu gavumenti z'ebitundu obulago n'amuttirawo lwa kubakyanga.

Omukazi asaze ofiisa mu gavumenti z'ebitundu obulago n'amuttirawo lwa kumucanga ne muggya we
By: Paul Galiwango, Journalists @New Vision

OMUKAZI asaze ofiisa mu gavumenti z'ebitundu obulago n'amuttirawo lwa kubakyanga.

 

Wiiki ewedde, kigambibwa nti omukazi eyategeerekeseeko erya Aliya lwe yamalirizza obulamu bwa Moses Omaido 44 abadde omukozi mu minisitule ya gavumenti z'ebitundu.

Omulambo Gwa Omaido Mu kitaba ky'omusaayi

Omulambo Gwa Omaido Mu kitaba ky'omusaayi

Omaido abadde mutuuze wa zzooni ya Kamuli A esangibwa mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso era ng’abadde akola ng’akulira abakozi ku kakiiko k'ebyensimbi mu minisitule ya gavumenti z'ebitundu aka "Local Government Finance Commission."

 

Omu ku batuuze ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nga bwe yawulira omuntu nga alaajana ng’agamba eddwaliro mu luzungu.

 

Ono era yaggasseeko nti omugenzi oluvannyuma lw'okumufumita yadduka n'akambe wabula bwe yatuukako w'atuuse n'akasikamu omusaayi ne gweyongera okumuvaamu n'agwa wansi.

Akambe Ke bafumita Omaidonga

Akambe Ke bafumita Omaidonga

Brian Malinga abadde mukwano gw'omugenzi era muliraanwa yatemya ku poliisi n’agamba nti waliwo abantu abaasanga omugenzi ng’agudde mu kkubo ne bamutemyako era bwe yatuukawo nga Omaido gw'alaba.

 

Okusinziira ku bujulizi obwaweereddwa poliisi muganzi wa Omaido ayitibwa Oliver Agadi wiiki ewedde nga March 25,2026 yadda awaka ku saawa 2:00 ez'ekiro n'asanga Aliya m unju gwe yali amanyi nti baayawukana ne Omaido era bo basula bombi mu kisenge ye n'asigala mu ddiiro mwe yasula.

 

Agadi agamba nti nga bukedde kumakya ku saawa 12:00 Omaido yali ali mu kwetegeka agende ku mulimu Aliya n'amugaana era awo we waava okutabuka wakati w'ababiri .

Omugenzi Omaido Bw'abadde Afaanana

Omugenzi Omaido Bw'abadde Afaanana

Ensonda mu poliisi yategeezeza nti Agadi nga bwe yategeezeeza poliisi nga ye bweyali ava mu kiyigo okunaaba kwe kusanga omusaayi nga guva mu kisenge kyokka nga teriiyo muntu yenna era agenda okufuluma yasanga Omaido omulambo gwe gugangalamye mu kitaba ky'omusaayi mu kkubo eridda ku kizimbe kw'abade apangisa.

 

Ensonda mu poliisi zaategeezeza bukedde nti Aliya teyalinze binaddirira n'abulawo nga Agadi abadde muganzi wa Omaido gw’abadde abeera naye poliisi yamukutte era alumiriza munne (Aliya) okutta Omaido.

 

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala yategeezezza nga poliisi bw’ekyali ku muyiggo gwa Aliya n'akakasa okukwatibwa kwa Agadi okugiyambako mu kunoonyereza ku musango. Omugenzi yaziikiddwa Ngora

Tags:
Mukazi
Kusala
ttemu