Amawulire

Omuvubuka apangisizza loogi n'attiramu muganzi we gw'alumirizza okupaala n'abasajja abalala

POLIISI y'e Luweero ekutte omuvubuka agambibwa okupangisa loogi n'atugiramu muganzi we ng'amulanga kumubadala n'aganza abavubuka abalala.

Omuvubuka apangisizza loogi n'attiramu muganzi we gw'alumirizza okupaala n'abasajja abalala
By: Kanyike Samuel, Journalists @New Vision

POLIISI y'e Luweero ekutte omuvubuka agambibwa okupangisa loogi n'atugiramu muganzi we ng'amulanga kumubadala n'aganza abavubuka abalala.

Boaz Namanya 27 yavudde Kitovu mu disitulikiti y'e Wakiso n'apangisa loogi mu kabuga k’e Ziroobwe mu Luweero mwe yattidde muganzi we Caroline Kemirembe 26 omutuuze w'e Kikyusa mu Luweero nga yeeyambisa akambe.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti bino byabaddewo ku Ssande ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo omukwate bwe yapangisa ekisenge mu loogi ya  Kayiwa Complex Bar and Lodge n'ayita muganzi we beesanyuseemu.

Kigambibwa nti abadduukirize baawulidde omuntu eyabadde alaajana mu kisenge kya loogi oluvannyuma ne basanga omukwate nga naye abooyaanira mu loogi nga kigambibwa yabadde yeewadde obutwa yeggye mu budde.

Baamututte mu ddwaliro okujjanjabwa, poliisi yagenze mu loogi n'eggyamu ebizibiti omuli akambe n'amasimu abiri ate omulambo ne gutwalibwa e Kasana okwongera okugwekebejja.

Tags:
Kutta
Kitalo!
muwala