Amawulire

Omukugu awadde tips z'okutandika business

ABANTU bangi nadala abavubuka  mu Uganda bakyagenda mu bizinensi nga tebeetegese bulungi, ekivaako bangi okufiirwa ssente n’okulemererwa okuziyimirizaawo nga Rosemary Mutyabule omukugu my bya business bwannyonnyola okuva mu  kitongole ekya Enterprise Uganda ng'alaga biki ebirina okukolebwa okuyamba business okuyimirirawo.

Rosemary Mutyabule ng'awa tips z'okutandika business
By: Nuliat Namagembe, Journalists @New Vision

ABANTU bangi nadala abavubuka  mu Uganda bakyagenda mu bizinensi nga tebeetegese bulungi, ekivaako bangi okufiirwa ssente n’okulemererwa okuziyimirizaawo nga Rosemary Mutyabule omukugu my bya business bwannyonnyola okuva mu  kitongole ekya Enterprise Uganda ng'alaga biki ebirina okukolebwa okuyamba business okuyimirirawo.

Mu Uganda, bizinensi entono n’ez’awakati ze zisinga obungi era zikola kinene nnyo mu by’enfuna by’eggwanga. Wabula, abamu ku bavubuka batandika bizinensi nga tebalina kumanya kumala.

Okusinziira ku mukugu mu bya business Rosemary Mutyabule agamba nti ekimu ku bigenda mu maaso okukosa abavubuka bwe butamanya ku nsonga z’ensimbi n’okutegeka bizinensi.

Abamu ku Bamemba ba NBI ababadde ku mukolo

Abamu ku Bamemba ba NBI ababadde ku mukolo

ono era aliko empagi zalambuludde omuntu yenna nga atandika business zalina okugoberera omuli okutandika nga olina plan ,okumanya enzilukanya ya sente,okutandiika business etali mu katale ne birara nga bwalambulula. 

Mutyabule okwogera bino asinzidde ku mukolo gwa Business Network International BNI kwebeegatidde ku kitongole ki Enterprise Uganda okwongera okubangula ba mmemba baakyo ku butya bwebayinza okwongera okunyweza buzinensi zaabwe nga Suzan Nambi akulembera team eno bwalambulula. 

Ono era ayongerako nti kaweefube w'ekibiina kwe kuwa okumanya kwa bizinensi eri abantu basobole okufunira bizinensi zaabwe ssente nnyingi nga bayita mu kutendekebwa  okuyiga ensonga za bizinensi ng’okukuuma ebiwandiiko n’ebirala bingi.

Diana Ninsima Kibuke Dayirekita wa BNI mu Uganda ategeezezza Ekibiina kino kigenda kugaziya akatale n’okukula kw’enyingiza eri omuntu akola bizinensi nga kiyita mu nkolagana etukidwako ne Enterprise Uganda nga alambuludde ne kungeri gyebagenda okukigaziyamu okwetolola Uganda yona.